
Ashraf Kasirye eyalumiziddwa omutwe nga tannalongoosebwa.
Ashraf Kasirye munnamawulire wa Ghetto TV eyakubiddwa ‘ekintu' ku mutwe n'ayisibwa bubi ku Ssande yalongooseddwa omutwe mu ddwaaliro e Lubaga.
Barbie Itungo Kyagulanyi (muky wa Bobi Wine) yagambye nti abasawo baamaze essaawa ttaano ku Ssande nga balongoosa omutwe gwa Kasirye.
Abasawo baamutegeezezza nti akawanga kaabadde kaatise nga kazzeemu enjatika. Yasabye abantu okulinda lipooti y'abasawo.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yafulumizza ekiwandiiko n'ategeeza nti munnamawulire wa Ghetto TV on Kasirye yakubiddwa akakeke ka ttiyaggaasi ku liiso erya kkono naye si ssasi ng'engambo bwe zibadde zibuungesebwa.
Yategeezezza nti waabaddewo obulumbaganyi ku bapoliisi baabwe n'abawagizi ba NUP e Kyabakuza nga bagezaako okuwakanya gye baabadde babayisa okugenda mu disitulikiti y'e Kyotera.
Mu kanyolagano kano bannamawulire balumiziddwa omwabadde ne Kasirye.
Enanga agamba nti bannamawulire bapoliisi baabakanye dda n'omulimu gw'okuzuula ebisingawo.