TOP
  • Home
  • News
  • Ebizuuse ku mujaasi eyasse omuwala n'abooluganda

Ebizuuse ku mujaasi eyasse omuwala n'abooluganda

Added 30th December 2020

Omujaasi Godson Mutahiire eyasse abantu.

Omujaasi Godson Mutahiire eyasse abantu.

EBIPYA bye tuzudde ku muwala Oliver Ninsiima omujaasi Godson Mutahiire gwe yakubye amasasi n'abooluganda lwe n'abatta biraga nti yali muganzi we ne baawukana.

Bino byabadde ku kyalo Ryeru mu disitulikiti y'e Rubiriizi.

Ensonda mu ffamire y'omuwala Oliver Ninsiima zaategeezezza nti bano baali baagalana okuva ng'omuwala akyasoma mu siniya era ne ku ffiizi ng'amusasulirako ekitundu.
Kino yakikola nga bamaze okukkaanya nti bw'amaliriza okusoma agenda kumufumbirwa.

Omulenzi ono yasooka kugenda wa Scovia Kaziire ssenga w'omuwala n'amutegeeza ku nsonga zino ne bakkiriziganya.

Ensonda zaategeezezza nti Oliver bwe yatuuka ku yunivasite, era omujaasi ono yasigala amusasulirako ekitundu ku bisale kyokka ekyamuggye mu mbeera kwe kukomawo mu kyalo mu nnaku enkulu nga takyamulabawo.

Omujaasi ono ng'abadde akolera mu nkambi y'e Kafuro yabazizza Oliver bwe yakomyewo ne muganda we Maureen Kyatusimire ku Ssekukkulu n'abuuza omuwala we batuuse ku by'okufumbiriganwa nga tammuka.

Oliver Ninsiima (ku Kkono) Ne Maya Abaatiddwa

Bwe yanyiize yagenze mu bbaala n'anywa omwenge nga bw'awera nti gw'anaakwatako ajja kumulaba.

Omwenge olwamulinnye ku mutwe n'addayo mu nkambi y'amagye e Kafuro gy'abadde akolera.

Yasoose kukuba masasi ng'ayagala kutta mukama we, olwavudde eno n'agenda ewa Kaziire ssenga w'omuwala n'amusaba aggulewo boogere ku nsonga z'omuwala. Bwe yagaanyi, yabadde agenda okuggyako ettaala n'amukuba essasi.

Olwavudde ewa ssenga e Mubanda B n'agenda mu bazadde b'omuwala e Nkondo B n'abakonkona ne bagaana okuggulawo.

Yagenze ku ddirisa n'alikubamu amasasi agaakutte Maureen. Badduse ne beekweka mu kazigo ka mwannyinaabwe Conald Maya era eno gye yabasanze bonna n'abakuba amasasi n'abatta.

Omwana Rahman Mawejje 10 ne Ramadhan Mawejje baabadde babakwese wansi wa Kitanda. Omulenzi omuto essasi lyamwabizza omutwe.

Godson Mutahiire yadduse n'asooka yeekweka ku kabuga k'e Rutoto, era Lt. James Kasule ye yakulembedde ekikwekweto okumuyigga.

Nga bali mu kuziika, Kasule yeetondedde aba ffamire ng'ateebereza nti wayinza okubeerawo ensonga ennene eyamuviiriddeko okukola ebikolwa by'okutta abantu.

Kasule yagambye nti bino yabikoze ng'omuntu so si ggye lya UPDF era baamukutte kati bamukuumira mu nkambi y'amagye.

Okunoonyereza bwe kunaabeera kuwedde kkooti bagenda kugituuza ku kyalo wennyini we yaddizza omusango bamuvunaane.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...