TOP
  • Home
  • News
  • Aba minisitule batadde akazito ku Eezzy ku luyimba lwa'Tumbiiza saawundi'

Aba minisitule batadde akazito ku Eezzy ku luyimba lwa'Tumbiiza saawundi'

Added 30th December 2020

Emma Mulondo (ku kkono), Robinah Opoka, Eezzy ne Emmanuel Ainebyona.

Emma Mulondo (ku kkono), Robinah Opoka, Eezzy ne Emmanuel Ainebyona.

ABA minisitule y'ebyobulamu batadde akazito ku muyimbi Eric Opoka amanyiddwa nga Eezzy addemu oluyimba lwa ‘Tumbiiza saawundi' ng'aluggyeemu ebigambo bye bagamba nti bisasamaza n'okukalubya emitima gy'abantu ku kirwadde kya ssennyiga omukambwe owa corona.

Bino bye bimu ku byavudde mu nsisinkano eyabaddewo eggulo (Lwakubiri) ku kitebe ky'ekitongole ky'ebyempuliziganya ekya UCC e Bugoloobi nga yeetabiddwaamu abakungu ba minisitule y'ebyobulamu ne Eezzy n'abaamuwerekeddeko.

Wadde aba minisitule baabadde baagala oluyimba luwerebwe obutaddamu kuzannyibwa ku mikutu gyonna nga bwe baasooka okuwandiikira aba UCC nga bagamba nti, lujjudde obubaka obubuuzaabuza n'okulaga abantu nti ekirwadde kya corona si kyamaanyi ate nga kyabulabe era abantu bangi bafudde.

Ibrahim Bbosa, omwogezi wa UCC eyayise mu lukiiko luno okutabaganya enjuyi zombi yategeezezza nti mu kuwabula kwabwe balaze nga bwe kiyinza okuba ekizibu okuluwera kuba lusaasaanye nnyo mu bantu nga n'abamu bayinza okusinziira ku mbeera eno okwongera okulutambuza.

Baabawadde amagezi waakiri omuyimbi addemu oluyimba luno (Remix) mu mbeera esomesa n'okubuulira abantu obulabe n'engeri gye basobola okwewalamu corona bonna
kye bakkirizza.

Kino nga tebannakituukako, aba minisitule y'ebyobulamu baasoose kukuba bituli mu luyimba lwa 'Tumbiiza saawundi'. Bakira bano banokolayo ebigambo bye bagamba nti bibuzaabuza abantu omuli; emitima gyakaluba, si ka corona, oyo COVID twamuvaako,
leka tunyumirwe poliisi teriiwo n'ebirala.

Oludda lwa Eezzy nga bayambibwako Emma Mulondo eyabaddewo ku lw'ekibiina kya bamaneja n'okutumbula ebitone baasabye waakiri mu nteekateeka y'okuddamu oluyimba olupya aba minisitule be baba bateekamu ssente z'okukwata amaloboozi ne vidiyo kuba omuyimbi yafulumya ssente nnyingi ku lukadde.

Wabula Emmanuel Ainebyona omwogezi wa minisitule y'ebyobulamu yagambye nti kino tebasobola kukikola wabula kye bakkirizza kwe kubawa obuyambi obw'ekikugu bwe beetaga okukola oluyimba olusomesa abantu ku corona.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeero eyakwatiddwa ne mukyala we.

Bakutte bana abatunda eddag...

ABANTU 4 okuli n’omusawo w'ebisolo bakwatiddwa mu kikwekweto ky’okufuuza abatunda eddagala ly’ebisolo ery'ebicupuli...

Omuserikale ng'ayingiza Mabaale  mu kaduukulu.

Eyateeze muliraanwa n'amute...

POLIISI y’e Mpigi ekutte omutuuze n’emuggalira lwa kukakkana ku muliraanwa we n’amutema ejjambiya ku nsingo n’ekigendererwa...

Asooka ku kkono ye mumyuka w'akulira yunivasite ya UCU, Prof. Aaron  Mushengyezi ate asooka (ku ddyo) ye Ndyanabo.

Vision Group enywezezza enk...

YUNIVASITE ya Uganda Christian University eyongedde okunyweza enkolagana yaayo ne Vision Group. Enkolagana eno...

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...