TOP
  • Home
  • News
  • Museveni atongozza olwa Kira - Kasangati- Matugga

Museveni atongozza olwa Kira - Kasangati- Matugga

Added 30th December 2020

Pulezidenti Museveni ng’atongoza okuzimba oluguudo lwa Kira- Kasangati- Matugga.

Pulezidenti Museveni ng’atongoza okuzimba oluguudo lwa Kira- Kasangati- Matugga.

PULEZIDENTI Museveni atemye evvuunike ly'okutandika okuzimba oluguudo ggaggadde olwa Kira - Kasangati okutuuka e Matugga n'ekigendererwa ky'okumalawo akalippagano k'ebidduka n'okutumbula enkulaakulana y'ekitundu.

Museveni yatuuse e Kira ng'obudde buwungeera n'alutongoza. Abantu baabadde bamulindiridde ku luguudo era yavudde mu mmotoka n'abawuubirako wabula n'abategeeza nti tagenda kwogera gye bali kuba amateeka ga Corona gajja kumukwata.

Nga Museveni tannatuuka, minisita avunaanyizibwa ku byentambula mu ggwanga, Gen. Edward Katumba Wamala yagambye nti oluguudo luwerako kkiromita 21, nga lwakumalawo obuwumbi bwa ssente za Uganda 200.

Lwakuzimbibwa okumala ebbanga lya myaka esatu nga kkampuni y'Abachina eya CICO (Chongqing International Construction Corporation) ye yaweereddwa omulimu gw'okulukola.

Oluguudo luno lugenda kuzimbibwa ku mutindo gwa waggulu nnyo mu mitendera gya mirundi ebiri nga ku mutendera ogwokubiri lugenda kuzimbibwa okuva e Matugga okutuuka e Wakiso.

Lwakuteekebwako amataala lwonna awamu n'enkulungo nnya okuli ey'e Kyaliwajjala, Kira, Kasangati ne Matugga.

Omubaka wa munisipaali ye Nansana, Robert Kasule Ssebunya yasiimye Pulezidenti
olw'enteekateeka ey'okubazimbira oluguudo luno n'agamba nti babadde batawaanyizibwa nnyo enfuufu so ng'ate abantu bangi abasenze mu bitundu bye Wakiso abalukozesa.

Yagambye nti lwakuyamba okukendeeza akalippagano k'ebidduka ku nguudo okuli olwa Jinja road, Bombo, Kira, Najjeera, Mpereerwe ne Kiwaatule.

Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza ebisookerwako, Rose Mary Seninde yasabye abantu b'e Wakiso obutabeera beerabize wabula basinziire ku birungi Pulezidenti by'akoledde ekitundu kyabwe bamulonde nga January 14, 2021. Yanokoddeyo ebikoleddwa okuli enguudo nga Neebalamye Mayanja oluva ku Entebbe Road okutuuka e Buddo.

UGANDA EKULAAKULANA -MUSEVENI
Pulezidenti yasoose kwogerera ku leediyo mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri ng'asinziira mu maka g'obwapulezidenti e Nakasero n'agamba nti Uganda esobodde okukulaakulana olw'obukulembeze obulungi obwassa essira ku nguudo n'amasannyalaze.

Yategeezezza nti wadde nga yasooka kuwakanyizibwa Palamenti, kyokka yalemerako ng'omulwanyi n'abamatiza ne bongeramu ssente okutuuka ku buwumbi 6,000 okuva ku 300.

Ekintu kye kimu kye yakola mu kuzimba amabibiro g'amasannyalaze ekyawonya eggwanga okuva mu kibululu kuba mu kiseera kino waliwo amasannyalaze agamala.

Okwongera okulonda gavumenti ya NRM yalaze nti kye kijja okutebenkeza emirembe egituukiddwaako n'asaba abalonzi okwewala bannakigwanyizi.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...