
Omugenzi Zebra eyattiddwa mu bukambwe.
ABASERIKALE abaakubye Zebra Ssenyange amasasi bali mu kattu oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okutegeeza nti, agenda kunoonyereza azuule ekituufu ekyabaddewo.
Ensonda mu byokwerinda zaategeezezza nti, abaserikale b'ekitongole kya poliisi ekikessi ekya Crime Intelligence (CI) nti be baakulembeddemu ekikwekweto mwe battidde Ssenyange. Kigambibwa nti ebikwekweto ebimu babikolera wamu n'ekitongole ky'amagye ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) era nti ne ku mulundi guno kwabaddeko n'abajaasi ba CMI.
Abaabaddewo nga Ssenyange attibwa balumiriza nti abaserikale abaamusse baabadde mu byambalo by'ekibinja ekirwanyisa abatujju ekya Counter Terrorism (CT). Ekibinja kya CT, kirimu abaserikale ba poliisi abaatendekebwa ne mu by'ekijaasi, kyokka era mulimu n'abajaasi aba Joint Anti-Terrorism Task Force (JATT) nga bano bakolera wamu wansi w'ekitongole ky'amagye ekikessi ekya CMI.
Ensonda zaategeezezza nti, mmotoka Toyota Drone enjeru okutali nnamba ezaakozeseddwa abeebyokwerinda abaakubye Ssenyange, za kitongole kya CI ng'olumu zitera okulabibwako e Kireka ku Special Investigations Division (SID) awali akaduukulu ka CI ne CMI mwe basibira abasibe be baba bakutte.
Emmotoka zino, zirabwa nnyo ennaku zino mu kukwata abantu abagambibwa nti beenyigira mu kukuma mu bantu omuliro mu kwekalakaasa kw'omwezi oguwedde bwe baggalira Robert Kyagulanyi ‘Bobi Wine'.
Wadde ensonda zirumiriza nti abasse Ssenyange baavudde mu CI, wabula dayirekita w'ekitongole kino Col. Christopher Ddamulira bwe yatuukiriddwa yagambye nti ekikwekweto ekyo tekyabadde wansi we era n'agamba nti bagenda kulinda okunoonyereza okukolebwa poliisi.
GWE BAAKUTTE ABAFUUKIDDE EKIZIBU
Omu ku bantu abakulu mu kunoonyereza kuno ye munne wa Ssenyange ayitibwa Robert Mukasa (Soja Man) gwe baakutte ne bamuteeka ku mpingu era n'abayamba okubatuusa ku Ssenyange.
Ono yalabye byonna ebyabaddewo era kigambibwa nti abaserikale bwe baamaze okutta Ssenyange, baatutte Soja Man ku mulambo gwa mukama we ne bagukuba amasasi amalala okumukakasa nti tebasaaga.
Kyokka ensonda zaategeezezza nti omuvubuka ono atadde abaserikale mu buzibu kubanga ajungulula ebyo byonna bye baawaddeyo okwewolereza nti Ssenyange yabadde abalwanyisa.
Kyasoose kutegeezebwa nti Soja Man naye attiddwa wabula oluvannyuma poliisi n'etegeeza nti ssi bituufu.
Kigambibwa nti akuumirwa mu kaduukulu nti era abaserikale abasse Ssenyange bakola ekisoboka kyonna okukakasa nti by'annyonnyola bivaayo nga biraga nti Ssenyange yabadde abalwanyisa okubaggyako emmundu nti era baamukubye amasasi mu kwetaasa.
Kigambibwa nti abaserikale abasse Ssenyange baakoledde ku mawulire ge baafunye nti Ssenyange abadde atendeka ebibinja by'abamenyi b'amateeka mu Kawempe.
Guno gwabadde mulundi gwakubiri ng'abaserikale bakuba Ssenyange amasasi.
Baasooka kumulumba mu 2018 ne bamukuba essasi mu kugulu nga bamulumiriza nti yali agezaako okubalwanyisa bwe baali bamutwala okumuggalira ku misango gy'okutendeka be bagamba nti bamenyi ba mateeka.
Ku mulundi ogwo, eyali RCC wa Kawempe Deborah Nabukenya yagenda n'alambula Ssenyange ne yeetonda olw'abaserikale be yayogerako nti baali bakoledde ku lugambo okulumba Ssenyange. Aba ffamire beewuunya lwaki ku luno, abaserikale baakubye kutta.
Kigambibwa nti, abeebyokwerinda abaasindikiddwa baabadde n'ebiragiro okukuba ku nnyama.
Eky'okumulumba ng'ebula ennaku ntono asisinkane Pulezidenti Museveni nakyo kyaleese ebibuuzo ng'abamu bagamba nti osanga yattiddwa olw'ebyo by'abadde ategeka okutegeeza Pulezidenti.