
Pulezidenti Museveni ng’ayogera n’aba Bukedde ku Ssande.
OKUZZA abayizi bonna ku masomero kikyaliko enkalu, olw'obulwadde bwa Corona obweyongera buli olukya.
Pulezidenti Museveni agambye nti kijja kuba kyabulabe okuteeka obulamu bw'abaana b'eggwanga abasukka obukadde 10, mu buzibu obunene nga bazzibwa
mu masomero mu mbeera y'obulwadde bwa COVID-19 obuli mu kutta abantu.
Mu mboozi ey'akafubo ne Bukedde mu nsisinkano eyabadde mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero ku Ssande, Museveni yagambye nti yakkiriza abayizi
abali mu bibiina eby'akamalirizo okudda ku masomero kubanga batono era bwe babeerayo bokka basobola okwewa amabanga n'okugoberera ebiragiro by'okwewala Corona ebirala era wabadde tewannabeerawo buzibu bwonna mu masomero.
Kyokka yagasseeko nti, "Okuzza abaana bonna ku masomero mu kiseera kino kyabulabe; tubeera tutadde obulamu bwabwe mu buzibu; ekyo sikiwagira; njagala
okugenda mu Ggulu, saagala Katonda antwale mu kifo ekirala ng'anvunaana okuteeka obulamu bw'abaana mu buzibu."
OKUSOMA KUJULIDDE DDAGALA LIGEMA CORONA
Museveni yagambye nti okuzza abayizi ab'ebibiina byonna mu masomero kyetaaga kusooka kufuna ddagala erigema Corona oba eriwonya obulwadde buno.
Yannyonnyodde nti gavumenti bw'emala okuleeta eddagala erigema (eryamaze okuzuulwa) era nga n'omuwendo gw'abantu abagemeddwa guwerako, nga balyoka bakkiriza abayizi bonna okudda mu masomero.
Yagambye nti kabineeti yatudde n'esalawo okugula eddagala erigema Corona mu bwangu era baasazeewo bagule ebika bibiri okuli ekika ekyazuuliddwa e Bungereza n'ekika ekyazuuliddwa e China.
Yagambye nti eddagala lya China lirina enkizo kubanga likoleddwa mu bintu
eby'obutonde (natural medicine) ebitalina bulabe bwe bituusa ku bantu baba bakozesezza ddagala eryo.
Amerika ly'eggwanga eddala eryavumbudde eddagala erigema Corona nga kati
baakakola ebika bibiri, wabula Museveni yagambye nti kyasaliddwaawo
bagende n'erya Bungereza n'erya China.
Museveni yagambye nti basuubira eddagala lino mu bwangu, kisobozese amasomero okuggulawo ng'abayizi bamaze okugemebwa.
Wabaddewo enteekateeka Minisitule y'ebyenjigiriza gy'ekolako okulaba engeri abayizi
bonna gye basobola okudda ku masomero mu lusoma luno olutandika January 2021, naye kino kiyinza obutasoboka kubanga gavumenti yategeeza omwezi
oguwedde nti eddagala erisooka lisuubirwa wakati wa March ne May 2021.
Kyokka Museveni yagambye nti abayizi mu bibiina by'akamalirizo bagenda kuddayo mu masomero omwezi guno basobole okumaliriza ebigezo byabwe wakati wa
March ne April 2021.
Yasabye abazadde okubeera abakkakkamu n'agamba nti obulamu bw'abaana bwe bukulembera, okusoma ne kulyoka kugoberera era gavumenti egenda kukola ekisoboka okukakasa nti abaana mu bibiina ebirala tebafi irwa nnyo.
Obuwumbi 22 ez'abasomesa naziwaayo - Pulezidenti
PULEZIDENTI Museveni yagambye nti ssente obuwumbi 22 ze yeeyama okuyamba ku
basomesa abatakyalina mirimu yaziwaayo era nga kati abazigaba be balina
okukola entegeka ey'amangu zituuke ku basomesa.
Yagambye nti ne ku bali mu busuubuzi n'emirimu egyakosebwa ennyo Corona,
bagenda kubateerawo ensawo ey'enjawulo okuyamba bizinensi zaabwe okudda engulu
n'agamba nti asuubira kino okukissa mu nkola amangu ddala ng'akalulu kawedde era
alina essuubi ddene erya NRM okuwangula.
Bwe yabuuziddwa ku kiragiro kya kafi yu bwe kigenda okukwasibwa ku lunaku lw'okulonda n'okusaba okuliwo okw'okuseeseetula ku budde bwa kafi yu ku lunaku
olwo busukke mu ssaawa 3:00 ez'ekiro n'okukkiriza ebidduka okutambula ekiro ekyo,
Museveni yagambye nti ekyo tagenda kukitomera butomezi wabula agenda kusooka
kwogera n'abeebyokwerinda.