TOP
  • Home
  • News
  • Trump bamukutte lubona ng'abba akalulu

Trump bamukutte lubona ng'abba akalulu

Added 5th January 2021

Trump ayagala obululu buddemu okubalibwa.

Trump ayagala obululu buddemu okubalibwa.

PULEZIDENTI Donald Trump bamukutte ku katambi ng'alagira avunaanyizibwa ku bululu mu ssaza erimu ku g'enkizo agaavaako enkalu ng'asaba abakola ku by'okulonda basale amagezi gonna okumubbira akalulu.

Akatambi akaakwatiddwa nga Trump alabika yabadde ayogera ne mukwano gwe ennyo kyokka nga tamanyi nti yabadde amukwata amaloboozi.

Yasabye nti ssinga basobola okumubbira obululu emitwalo 11 kuba bwe bwokka obusobola okumuzza mu kibalo okuwangula Joe Biden.

Wadde ebula wiiki bbiri n'ekitundu zokka Biden eyawangula akalulu ka Pulezidenti wa Amerika akaakubwa nga November 3, 2020 alayire, Trump yagaanira ddala okukkiriza ebyava mu kulonda.

Buli lukya alowooza nti ayinza okufuna ekkubo erimuwanguza akalulu akaggwa edda okubalibwa ne bamuwangula.

Mu maloboozi agaafulumiziddwa ku Ssande, Trump ge yeekangidde ku mikutu gya yintaneeti, yabadde agamba gwe yayise munne, Brad Raffensperger ayiiye nga bw'asobola amubbire obululu 11,780 ebisigadde abimulekere (Trump).

AmerikaAmerika 1

Brad y'akulira eby'okulonda mu ssaza ly'e Georgia nga lye limu ku gasigaddeko enkalu wadde nga Trump ne bw'aliwangula mu kadde kano, kizibu kya kudda ngulu ku buwanguzi obwamenya likodi Biden bwe yafuna.

Enteekateeka mu Amerika zigenda mu maaso okulayiza Biden nga January 20, 2021 oluvannyuma lw'okuwangula mu Electoral College n'ababaka 306 ate Trump n'afuna ababaka abaamulonda 232.

Abamerika bangi baakyawa embeera za Trump okubaswaza ng'agaanye okukkiriza ebyava mu kulonda nga ne Brad kye yakoze kyalabise ng'okuswaza Trump mu bantu.

Trump yasooka kuddukira mu kkooti wabula emisango ne bagigoba nga kati essuubi limusigadde mu lukiiko lwa Congress nga January 6, 2021 ng'ababaka bakakasa obuwanguzi bwa Biden.

Amagezi g'okumubbira obululu obwo, Trump yabadde ayagala kukakasa Amerika nti bwazuuse mu kuddamu kububala ekitegeeza nti mu kusooka baali babuwadde Biden nga bamubbidde.

Yabadde akyawammanta bw'abba obululu, abaaliko baminisita b'ebyokwerinda ne bawandiika omukuku gw'ebbaluwa ne balagira Trump ave mu kuzannya ebya jjangu onkwekule akkirize ebyava mu kulonda nti baamukuba akalulu n'enkoona n'enywa.

Era baamulabudde akomye okuyingiza amagye mu buvuyo bw'ebyokulonda, akome ne ku bawagizi be kubanga amagye ga Amerika geewa ekitiibwa n'okugondera amateeka tegayinza kwenyigira mu buvuyo ng'obwo.

Abaatadde omukono ku kiwandiiko kuliko; Dick Cheney, James Mattis (yakolerako mu gavumenti ya Trump n'amugoba), Mark Esper, Leon Panetta, Donald Rumsfeld, William Cohen, Chuck Hagel, Robert Gates, William Perry ne Ashton Carter.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...