TOP
  • Home
  • News
  • Trump ategese okwekalakaasa ku palamenti

Trump ategese okwekalakaasa ku palamenti

Added 6th January 2021

Trump pulezidenti wa Amerika aliko.

Trump pulezidenti wa Amerika aliko.

PALAMENTI ya Amerika eyaawamu eyitibwa Congress etuula leero okukakasa Joe Biden ku bwapulezidenti wa Amerika addako. Kyokka Pulezidenti Donald Trump akunze abawagizi be okweyiwa mu bungi mu kibuga ekikulu Washington DC okulaga obutali bumativu olwa ky'ayita okumukwakkulako
obuwanguzi bwe.

Trump alangiridde okwekalakaasa kw'atuumye ‘#MarchForTrump #StopTheSteal #DoNotCertify', n'akunga bannansi bonna bajje bamwegatteko ng'ebyafaayo
bikolebwa.

Trump akyawakanya obuwanguzi bwa Biden mu kalulu akaakubwa nga November 3,
2020. Baagenda okumaliriza okulonda nga Biden afunye obululu bwa Electoral College 306 ate Trump n'afuna 232. Trump agambye nti akyayinza n'okugaanira mu White House n'agamba nti alina abawagizi obukadde 71 abasobola okumukuuma n'afuga emyaka emirala ena (4).

Buno obululu palamenti bw'egenda okukakasa olwaleero kyokka ababaka ba Republican, ekibiina kya Trump abawera 20 baamaze dda okukakasa nti bagenda kuwakanya okukakasa obuwanguzi buno.

                  Biden Yeesekera.

Trump ng'akunga abawagizi be, yakubye obulango bw'asaasaanya ku mikutu egy'enjawulo era ye yabutadde ku mukutu gwe ogwa twitter ng'agamba nti ‘beera omu
ku bagenda okukola ebyafaayo. Tokakasa buwanguzi bwa Biden okomye okubba obululu.'

Bino bigenze okubaawo ng'abantu ab'enjawulo be bakkiririzaamu mu Amerika bamaze
okuvaayo ne bategeeza Trump nti akalulu kaggwa, akkirize ebyavaamu eggwanga
lisobole okugenda mu maaso.

Kino kyasinze kukakasibwa abaali abaduumizi b'amagye 10 mu mukuku gw'ebbaluwa gye baawandiikidde Trump ne bamulagira akkakkane ave mu by'okuwakanya era yeewale okuddamu okuyingiza amagye mu by'obululu.

Okwekalakaasa kwa Trump tekulina kye kugenda kukyusa mu mitendera gy'obuwanguzi bwa Biden era olumala okumukakasa olwaleero agenda kubeera
ng'alindiridde kulayira nga January 20, 2021.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?