
Tuleera yonna yayidde.
POLIISI ezudde omulambo gwa ddereeva, Munnakenya eyabadde avuga lukululana
(tuleera) eyagudde ku kabenje n'ekwata omuliro ku Lusooka omwaka.
Omwogezi wa Poliisi mu Busoga East, James Mubi, yagambye nti omulambo gwa Ibrahim Abedi Yare gwazuuse oluvannyuma lw'okusikayo ebipapajjo bya lukululana eyagwa mu mwala ku kyalo Wandago mu disitulikiti y'e Mayuge.
Gwazuuliddwa ku Mmande. Lukululana y'amafuta nnamba KAN 825D/ZD 9796 yatomeragana ne mmotoka ya buyonjo nnamba UAB 851Y.
Abantu baasooka kugamba nti yali abuuseemu n'adduka. Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Iganga nga nagwo guyidde.