TOP
  • Home
  • News
  • Abongedde okuwambibwa beeraliikirizza abantu

Abongedde okuwambibwa beeraliikirizza abantu

Added 6th January 2021

Teopista Nakiwala, eyasigala n’abaana ba Fred Kamya Teopista Nakiwala, eyasigala n’abaana ba Fred Kamya akyapooca n’ebiwundu mu ddwaaliro.

Teopista Nakiwala, eyasigala n’abaana ba Fred Kamya Teopista Nakiwala, eyasigala n’abaana ba Fred Kamya akyapooca n’ebiwundu mu ddwaaliro.

ABANTU abawambibwa bongedde okweraliikiriza abantu nga bwekitwaliddemu n'abasuubuzi b'ewa Kisekka obukenke ne bweyongera.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti, waliwo ebikwekweto ebigenda mu maaso okukwata abeenyigira mu kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19, 2020.

Nti abamu ku bagambibwa nti bawambiddwa batwalibwa bitongole bya byakwerinda ebimanyiddwa ng'ensonga zaabwe zaakutegeerekeka mangu.

Alimukizi Ddamulira eyakwatibwa ne mukama we John Ddamulira atunda nnati ewa Kisekka be bamu ku baawambibwa n'abalala basatu nga babaggya mu katale k'ewa Kisekka emisana ttuku ne babateeka mu mmotoka ezeefaananyiriza takisi ezitaliiko nnamba.

                               Tebalabikako

                                John Ddamulira

                 Charles Ssewanonda

                                        

Alimukizi yayimbulwa kyokka, mukama we, Ddamulira n'okutuusa kati tamanyiddwaako mayitire.
"Nga November 21, 2020, twali ku dduuka ku ssaawa nga 6:00 ez'emisana nagenda okulaba ng'abasajja abaali bambadde engoye eza bulijjo nga bonna beekapise obukookoolo, babuuka mu mmotoka ne batusongamu emmundu era mukama wange
John Ddamulira ne bamuteekako empingu ne batusula mu bummotoka bwabwe ne batwetoolooza ekibuga nga bwe batukuba." Alimukiza bwe yategeezezza.

Ayongerako nti abasajja baabakuba emiggo buli kitundu kya nnyingo era mu kiro ku ssaawa nga ttaano baamusuula e Bweyogerere ku luguudo lw'eggaali y'omukka ate mukama we ne bamutwala.

Yagambye nti, baabakuba nga bababuuza lwaki bakola effujjo ewa Kisekka. Paul Kato, Edriisa Webisa, Ben Kyaligonza ne Michael Mukwaba bagamba nti abaawamba Ddamulira bazzeemu ne bawamba ne Charles Ssewanonda nga December 23, 2020 emisana.

"Twali tuli ku mirimu gyaffe ne tulaba abasajja abajja beekapiise obukookolo mu takisi kigege bbiri ne bamukwata okuva ku dduuka lye ne bamutwala. tugezezzaako okumunoonya ku poliisi n'ebitongole ebirala yonna akyabuze," bwe baategeezezza.

Baagasseeko nti, ne munnaabwe omulala omukubi w'ebikonde, Joseph Lubega amanyiddwa nga Joey Vegas baamukutte ava kuziika ng'adda ewuwe mu bitundu by'e Bwaise. Vegas naye alina edduuka ewa Kisekka.

BANNABYABUFUZI B'E NANSANA TEBALABIKAKO
John Bosco Sserunkuuma ‘Kaana ka Mbaata' avuganya ku bwakansala bwa Nansana West ward yakwatibwa abasajja abaali mu ngoye ezaabulijjo nga balina emmundu e Nansana.

Omukwanaganya w'ekibiina kya NUP mu Nansana, Joseph Matovu agamba nti Sserunkuuma yasooka kubategeeza nga bwe waliwo abantu abaali bamulondoola era waayita ennaku ntono n'abuzibwawo.

Richard Lubwama Mukubabyasi omu ku balondoola ensonga z'abantu abagambibwa okuwambibwa mu bitundu by'e Ntebe yagambye nti bangi abawambiddwa e Ntebe ne bataddamu kulabikako.

Kyokka ku Lwomukaaga nga January 2, 2020, abeebyokwerinda baayimbuddeko mukaaga ku babadde banoonyezebwa.

Abaayimbuddwa baategeddeko erinnya limu okuli; Ssaazi, Bakari, Wasswa, Brian ne Musinguzi. Bano baabuzibwawo nga beeyambisa mmotoka bbiri okuli; Toyota Super Custom eyaliko nnamba UAM 215N ne Toyota Drone eyaliko nnnamba UAX 186T.

Waliwo abalala mukaaga be bakyanoonya okuli; Ashiraf Nsubuga, Reagan Ssentongo, Jamir Kigozi, Julius Kayiwa n'omulala gwe bamanyiiko erya Khassim nga baawambibwa nga December 22, 2020. Ate Johns Zzaake Kasoma ne Abraham Oteka baawambibwa December 24, 2020.

FFAMIRE Z'ABAWAMBIBWA ZAAGALA BWENKANYA
Agnes Nabwire muka Mohammad Kanata omutuuze w'e Walusubi e Mukono eyabuzibwawo nga December 23, yagambye nti, omwami we baamukwata ku ssaawa
munaana ez'ekiro. Abaamutwala baamugamba nti, baali bapoliisi.

Okuva lwe yatwalibwa yagambye nti, baagenda ku poliisi e Walusubi ne babagamba okuwambibwa  kwa bba si musango.

"Baatubuuza oba tumanyi abaamuwambye bwe twabagamba nti tetubamanyi ne bagamba bo tebakolera ku lugambo," Nabwire bwe yagambye.

Yayongeddeko nti beeyongerayo e Mukono aba poliisi ne babagamba bagende ewa RDC Fred Bamwine n'abawa nnamba y'essimu n'abalagira bagende ew'akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango kyokka nayo bwe baatuukayo, yabatambuza okutuusa lwe baakoowa nga n'okutuusa kati, omusango tebaguyingizanga mu bitabo bya poliisi n'omuntu waabwe talabikanga.

Omulala gwe baatwala, ye Mariam Nakidde eyali yeesimbyewo ku bwakansala e Naggojje ku kaadi ya NUP. Muganda we Swabula Nakidde 14, yagambye nti, ku Ssande nga January 3, 2021 ku ssaawa ssatu ez'ekiro, mmotoka bbiri Drone zaasimba mu luggya ne muvaamu omusajja n'agoberera Mariam eyali afulumye wabweru okuwa enkoko emmere ne bamuwamba.

Ono baamulesa omwana wa myezi mwenda gwe yagambye nti asula akaaba obudde okukya. Nnyina abaamutwala tebamanyiddwa.

EYASIMATTUKA ALOJJA
Vincent Ssekanjakko ow'e Katoogo yagambye nti, yasimattuka okuwambibwa. Abaali baagala okumuwamba yabasanga ku nnyumba ye mu kiro bwe yali adda awaka n'abalengera nga basamba oluggi. Yagambye nti, baatulugunya abaana be ng'abalengera. Abantu abasoba mu 30 be bakawambibwa e Mukono.

EMISANGO 32 EGY'ABABUZE EGIRI MU KKOOTI
Bruno Francis Bazibu yawambibwa nga October 31, 2020 ku Okello House mu Kampala gye yali agenze okwetaba mu lukiiko olumu.

Fiona Namazzi mukyala wa Bazibu yagambye nti yaggula ku Gavumenti omusango gw'okubuzaawo bba mu kkooti ng'omusango gwali wa mulamuzi Musa Ssekaana era gwali gukyawulirwa engambo ne ziyitingana nti Bazibu yali atwaliddwa mu kkooti y'amagye e Makindye.

Baamuvunaana kusangibwa n'ebyokulwanyisa okuli amasasi, emmundu, n'omukka ogubalagala ebigambibwa nti byaggyibwa mu maka ge agasangibwa ku kyalo Bugembe-Kasengejje e Wakiso.

Emisango gy'abawambiddwa emirala egiri mu kkooti kuliko; Benjamin Rutabane, Emmanuel Magezi ne Theogen Sendegeya, Elsie Betty Mutaisa Mukalazi, Agaba Twinomujuni, Kakweza Rukira Bashaija, Denis Okello, Chrales Ongom Labeja, Francis Maurice Gasangwa, Elly Tumwine, Maj. Patrick Onyati Capt. Isaac Chemonges, Denis Mubiru, James Mwima, Andrew.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...