TOP
  • Home
  • News
  • Basimbudde mmotoka ezitwala ebinaakozesebwa mu kulonda

Basimbudde mmotoka ezitwala ebinaakozesebwa mu kulonda

Added 7th January 2021

Byabakama (owookubiri ku ddyo) ng’asimbula mmotoka ezitwala ebikozesebwa mu kulonda.

Byabakama (owookubiri ku ddyo) ng’asimbula mmotoka ezitwala ebikozesebwa mu kulonda.

AKAKIIKO k'ebyokulonda kongedde okwenyweza ng'eggwanga lyetegekera okulonda
mu nnaku ezisigaddeyo.

Ssentebe w'akakiiko, Omulamuzi Simon Byabakama yagambye nti, baaguze entimbe ggaggadde ze bagenda okuteeka ku buli kitebe kya disitulikiti we banaabalira akalulu.

BAYINGIZZAAWO EBYUMA EBIPYA
Yagambye nti, baaguze n'obuuma obupya bwe bagenda okweyambisa okukebera ebikwata ku baneetaba mu kulonda n'ategeeza nti, essaawa yonna, baakuyita ebibiina by'ebyobufuzi, abeesimbyewo ku lwa nnamunigina n'abaamawulire okulaga enkola y'obuuma buno.

Yayongeddeko nti, bagenda kutegeka omusomo ogwawamu okusomesa abagenda okulondesa n'abagenda okukuuma akalulu k'abeesimbyewo ku nkozesa y'obuuma buno.

Byabakama yalabudde abeesimbyewo abaagala okuteekawo ebifo mwe banaakung'aanyiza ebivudde mu kulonda n'agamba nti, singa banaakozesa ebifo ebyo mu bukyamu ne beerangirira ku buwanguzi, ebitongole byebyokwerinda bijja kubakolako.


EKIFO AWANAALANGIRIRWA OBULULU KIRI KIMU KYOKKA
"Ekifo ekirambikiddwa mu Ssemateeka okulangirira akalulu ka pulezidenti kiri kimu kyokka, ababaka ba palamenti ebifo ebirambikiddwa gye balina okulangirirwa bitebe bya disitulikiti, ebyo bannabyabufuzi bye bateekawo tewali tteeka lyonna mwe basinziira kubiteekawo." Byabakama bwe yategeezezza.

Kino okukyogera, kiddiridde Robert Kyagulanyi Ssentamu okutongoza omukutu gwa yintaneeti ogwatuumiddwa ‘Uvote' kwe bagenda okusinziira okugatta ebinaaba bivudde mu kulonda.

TEMULEMERA WE BALONDERA
Yagasseeko okutegeeza Bannayuganda obutalemera ku kifo we balondera nga bannabyabufuzi abamu bwe babakubiriza okukola n'agamba nti, baasabye abantu abeesimbyewo okuweereza abantu babiri ku buli kifo awanaalonderwa era abo be bajja okukuuma akalulu.

Bannamawulire yagambye nti, tebagenda kukkirizibwa kukuba bifaananyi mu kifo we balondera n'ategeeza nti, akalulu ka kyama era kkamera zijja kukoma wabweru wa kaguwa akanaaba kasibiddwa okwetooloola ekifo awalonderwa. Tebajja kukkirizibwa kukuba bifaananyi munda awalonderwa.

KKAMERA ZAAKUKOZESEBWA
Yayongeddeko nti, kkamera zijja kukkirizibwa mu bifo we banaalagirira ebinaaba bivudde mu kulonda okuli ebitebe bya disitulikiti n'e Kyambogo awagenda
okubeera ekifo ekikulu akakiiko k'ebyokulonda we kanaasinziira okulangirira ebinaaba bivudde mu kulonda.

Byabakama bino yabyogeredde Kyambogo ku tterekero ly'ebintu ebinaakozesebwa mu kulonda eggulo bwe yabadde atongoza okutandika okutambuza ebinaakozesebwa mu kulonda bitwalibwe ku bitebe bya disitulikiti mu ggwanga lyonna.

Yagambye nti, baatandikidde ku disitulikiti okuli Busia, Butambala, Mukono, Iganga, Karenga mu Karamoja, Kasese, Agago, Sironko ne Terego.

Yagasseeko nti, ebikozesebwa bye baasoose okuweereza kuliko ebya bakkansala b'obubondo okuli abakadde, abalema n'abavubuka ku mitendera okuli eggombolola, tawuni kkanso ne divizoni za Munisipaali abagenda okulonda nga January 11, 2021.

Yayongeddeko nti, ebirala ebinaakozesebwa mu kulonda bakkansala b'obubondo bwe bumu ku Munisipaali n'ebibuga bano baakulonda nga January 12.

Ebirala ebyatwaliddwa yagambye nti, bye bigenda okukozesebwa mu kulonda pulezidenti n'ababaka ba Palamenti nga January 14 n'agamba nti, bagenda kutambuza ebikozesebwa okutuusa nga disitulikiti zonna zimaze okufuna.

Yayongeddeko nti, bigenda kukwasibwa abakulira eby'okulonda mu disitulikiti n'abaduumizi ba poliisi n'asaba abeesimbyewo okuweereza amannya g'abantu babiri n'emmotoka ze banaakozesa mu kulondoola mmotoka ezitambuza ebikozesebwa mu kulonda.

"Mmotoka zaffe ezitambuza ebikozesebwa zikuumibwa butiribiri, temumala gasindika bantu abaserikale bayinza okubeekengera ne basooka bavaamu ne babasootinga." Byabakama bwe yagambye.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...