TOP
  • Home
  • News
  • Eyali minisita Kisamba Mugerwa afudde Corona

Eyali minisita Kisamba Mugerwa afudde Corona

Added 7th January 2021

Kisamba Mugerwa

Kisamba Mugerwa

Eyali minisita Kisamba Mugerwa afudde Corona

Abaffamire bategeezezza nti Kisamba Mugerwa eyaliko minisita, omukugu mu byobulimi, ebyenfuna, ebyobufuzi eyakulirako ekitongole ekigatta ebibiiba ebiwola n'okutera ensimbi ekya Uganda Microfinance Support Centre afudde leero olweggulo mu ddwaaliro e Mulago gye yatwaliddwa ng'alemeddwa okussa .

Mugerwa yalabibwako wiiki ewedde ku yunivaasite e Makerere ku ttendekero lya Makerere University College of Agricultural and Environmental Sciences (CAES) n'asaba gavumenti okwongera ssente yunivaasite eno eyongere okunoonyereza. 

Mugerwa yakulirako ekitongole ekiteekerateekera eggwanga  ekya National Planning Authority (NPA).

Mugerwa yazaalibwa nga July 5, 1945, mu Ssaza ye  Baamunanika mu disitulikiti y'e Luweero . Yasomera mu  Muyembe Tree Nursery School in Baamunanika n'agenda e Wampeewo Junior Primary School. N'adda e Mukono Bishop's Senior Secondary School gye yamalira S.4. Haaya yagisomera Kololo High School in Kololo, gye yafunira Dipulooma.

Mu 1968 yeegatta ku  Makerere College kati efuuka Makerere University, gye yakuguka mu byobulimi gye yafunura ddiguli esooka mu byobulimi, n'afuna eyookubiri n'eyookusatu. 

In 1980, yeesimbawo okukiikirira disitulikiti y'e Luweero South East ku kaada ya DP era n'akubwa amasasi mu mukono. Yakiikirira ekitundu kino okuva 1980 okutuuka 1985.

National Resistance Movement (NRM) bwe yatuuka mu buyinza mu 1986, Kisamba Mugerwa ye ssentebe wa LCV ow'e Luweero eyasooka okulondebwa mu  1986 to 1991. Oluvannyuma yalondebwa ku bubaka bwa palamenti n'akiikirira  Bamunanika mu 1991.

Yaweerezaako nga minisita mu bifo ebyebjawulo; minisita owa guno na guli mu offiisi ya Katikkiro wa gavumenti, minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'okuteekerateera eggwanga, minisita avunaanyizibwa ku byobulimi n'obuvubi omulimu gwe yavaako mu 2004 ng'afunye omulimu wabweru w'eggwanga.

"Nava mu byobufuzi mu 2004 nga ndi mumativu kubanga ebiruubirirwa byange byatuukiririra.  Nnali njagala nnyo okulaba Uganda ey'emirembe nga tusobola okwetaba mu kulonda okw'amazima n'obwenkanya," Mugerwa bwe yategeeza.
Wafiiridde nga ye cansala wa Ndejje University.


  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...