TOP
  • Home
  • News
  • Abayimbi mumpe omukisa mperereze abaminisitule batuwe ssente - Ragga Dee

Abayimbi mumpe omukisa mperereze abaminisitule batuwe ssente - Ragga Dee

Added 8th January 2021

Ragga Dee

Ragga Dee

Ng'omu ku bakulembeddemu enteekateeka y'okulaba ng'abayimbi bafuna ssente zino ezaabasuubizibwa gavumenti obuwumbi 47, Daniel Kazibwe amanyiddwa nga Ragga Dee yasoose kwegaana kubeera mu nteekateeka z'abo abategeka okwekalakaasa ng'agamba nti bamuwe omukisa ye ng'omuntu ayongere okwogera n'aba minisitule okulaba nga bafuna ssente mu mirembe.

"Minisitule si bbanka nti atambula ng'ogenda ng'oggyayo ssente z'oyagala. Tugumiikirize ssente zijja" bwe yagasseeko bwe yabuuziddwa ku ngabana ya ssente zino, Ragga Dee yagambye nti obuwumbi 10 ze z'abayimbi okweddaabulula ate obuwumbi 37 za kugula na kuteekawo ekifo eky'omulembe ekigenda okukola ng'amaka g'abayimbi ne bannabitone abalala e Bwebajja.

"Okufaananako ne Holly Wood mu Amerika oba Nolly wood mu Nigeria ne mu Uganda tugenda kufuna ekifo eky'omulembe w'osanga buli kimu kye weetaaga ng'omuyimbi, munnakatemba, omuzannyi wa ffirimu n'abalala era nga kirimu buli kimu kye weetaaga okukola ekyo ky'oyagala okuba ku mutindo.

MUBEERE BAGUMIIKIRIZZA - MINISITULE
Frank Mugabi omwogezi wa minisitule y'Ekikula ky'abantu bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yasoose kwennyamira olw'engeri abayimbi gye bakuttemu ensonga zino.

Twawulidde nti baagala kwekalakaasa naye nze ndowooza nti si kye kituufu kye balina okukola. Twogedde n'abakulembeze baabwe era tufubye okubannyonnyola naye kirabika bagaanyi okutegeera engeri ‘sisitiimu' za gavumenti bwe zikola.

Ekirungi gavumenti yakkirizza okubawa ssente era naffe nga minisitule ebatwala twawandiikira aba minisitule y'ebyensimbi ku nsonga y'emu okulaba nga banoonya ssente zino kuba tezaali mu bajeti.

Nnyongera okubasaba babeere bagumiikiriza nga bwe tunoonya ssente nga bwe twasobodde okufunayo akawumbi 1.2 netuzibawa nsuubira amangu ddala nga tufunyeewo ssente endala nazo tujja zibawa.

Tekibayamba kwekalakaasa ng'ate bakiraba tulina we tutuuse ku nsonga zino. Nze ndowooza n'abakulu be kikwatako ku nsonga eno bwe bakiraba kijja kubayisa bulala.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba alagidde abasos...

SSAABASUMBA w’essaza ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga alagidde Abasosodooti bonna mu ssaza ly’e Kampala...

Kasirye ng'ali waggulu ku byuma by'amasannyalaze.

Alinnye ku byuma by'amasann...

Omuvubuka Ronald Kasirye yeewanisizza abatuuze b'e Ntinda mu Ministers Village emitima bwawalampye waggulu ku byuma...

Ssaabasumba Lwanga ng'ateeka ekimuli awaabadde ekifaananyi ky'omugenzi Fr. Ssonko. Omulambo tegwaleeteddwa olw'obulwadde bwa Corona.

Ssaabasumba alagidde Bafaaz...

SSAABASUMBA w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alagidde Bafaaza bonna mu ssaza ly'e Kampala...

Pulezidenti Museveni ne Mukyala we Janet ku mukolo e Ntebe.

Museveni mwetegefu okuteesa...

PULEZIDENTI Museveni akkiriza nga bwali omwetegefu okutuula n'abavuganya Gavumenti bateese ku biseera by'eggwanga...

Ng'ozimba oyinza okwekubira bbulooka oba okugula eziwedde.

Aguze bbulooka eziwedde n'a...

BULI muntu abeera n'ekika oba ekirooto ky'ennyumba gy'ayagala okuzimba. Mulimu ababituukiriza kyokka abamu ne balemererwa...