TOP
  • Home
  • News
  • Bobi avumiridde effujjo eryamukoleddwaako

Bobi avumiridde effujjo eryamukoleddwaako

Added 9th January 2021

Kyagulanyi mu lukiiko lw’abaamawulire e Magere.

Kyagulanyi mu lukiiko lw’abaamawulire e Magere.

OMUBAKA Robert Kyagulanyi Sentamu (Bobi Wine) avumiridde effujjo eryamukoleddwaako ng'ali mu kunoonya akalulu ku Lwokuna mu buvanjuba bwa Uganda.

Mu lukiiko lw'abaamawulire lwe yatuuzizza mu maka ge e Magere ku lw'e Gayaza, Kyagulanyi yagambye nti tebaakomye kukwata ttiimu ye ey'abantu 25, naye baakutte ne munnamawulire obwedda ayogera eri emikutu gy'amawulire egy'ebunaayira ng'abaserikale bamusikaasikanya n'okumusikambula.

Yategeezezza nga bino ebikolwa eby'effujjo ebizze bimukolebwako bwe bigenda okukoma mu mulembe guno nga mu Uganda empya tebijja kubaayo.

Kyagulanyi era yakikkaatirizza ng'ebikolobero ebitandise okubakolebwako
n'okukwata abantu be bonna abamunoonyeza akalulu bigendereddwaamu
kumusala maanyi naye tajja kupowa kuba ensonga gy'aliko y'esinga obukulu.

Yasinzidde wano n'alangirira nga bwe waliwo abakungu mu gavumenti b'agenda okutwala mu kkooti y'ensi yonna ng'ayita mu bannamateeka be abaawano n'ebweru w'eggwanga olw'ebikolobero ebikoleddwa ku bantu omuli n'abamu abattiddwa.

Yategeezezza nti buli muntu akoze ekikolobero ajja kuvunaanibwa ng'omuntu era n'abamu bagaanibwe okugenda mu mawanga g'ebweru era nga basuubira n'okusaba omuwaabi wa kkooti y'ensi yonna okunoonyereza ku Uganda n'ebikolobero ebirimu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amanda

Emigaso gy'amanda

Emigaso gy'amanda Ng'oggyeeko okugafumbisa, amanda gazuuliddwaamu emigaso. Gazigula olususu n'okugoba enkanyanya....

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...