TOP
  • Home
  • News
  • Amuriat avunaaniddwa okutuula ku mmotoka waggulu

Amuriat avunaaniddwa okutuula ku mmotoka waggulu

Added 9th January 2021

Amuriat ng’ali mu maaso g’omulamuzi Abdullah Kaiza mu kkooti y’e Kakumiro.

Amuriat ng’ali mu maaso g’omulamuzi Abdullah Kaiza mu kkooti y’e Kakumiro.

PATRICK Oboi Amuriat avuganya ku bwapulezidenti ku kkaadi ya FDC abadde akyewozaako ku misango gy'okutomera aduumira poliisi mu disitulikiti y'e Mbarara, John Rutaagira, ate kkooti mu disitulikiti y'e Kakumiro n'emuvunaana okutuula waggulu w'emmotoka ye ng'agenda awuubira abawagizi be.

Yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ento, Abdullah Kaiza, ku Lwokuna eyamusomedde emisango gy'okutuula waggulu ku mmotoka ng'agenda awuubira ku bawagizi be, ekintu ekimenya amateeka agafuga eby'entambula, okusinziira ku nnoongoosereza eyakolebwa mu 2020, akawaayiro nnamba 126 (1).

Omulamuzi Kaiza, era yasomedde ddereeva wa Amuriat ayitibwa Michael Ekomoloit emisango gy'okukozesa obubi oluguudo ekintu ekiteeka obulamu bwe n'obw'abalala mu matigga.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Stanley Sabunyo, lwategeezezza nti abawawaabirwa emisango baagizza nga January 7, 2021 ku kifo ekiyitibwa Kasalaba ekiri ku luguudo oluva e Kibaale okudda mu disitulikiti y'e Kakumiro, nga batambulira mu mmotoka ekika kya Toyota Land Cruiser nnamba- UBF 042E.

Sabunyo era yategeezezza kkooti nti okunoonyereza ku misango gyonna kwawedde n'asaba omulamuzi okubawa ekibonerezo ekibagwanira.

Wabula munnamateeka w'abawawaabirwa, Franklin Byekitiinisa, yategeezezza nti abantu be baatwaliddwa mu kkooti nga ziyise mu ssaawa 12:00, ekimenya amateeka n'asaba kkooti ekkirize bayimbulwe kubanga kyabadde kizibu okufuna ababeeyimirira.

Byekitiinisa, era yategeezezza kkooti nti Amuriat kandideeti eyeesimbyewo ku kifo
eky'obuvunaanyizibwa ate ng'ennaku z'okunoonyezaako obululu zigenda ziggwaayo n'asaba omulamuzi akkirize okuyimbula abavunaanibwa awatali bukwakkulizo bwa kusooka kufuna babeeyimirira.

Oluvannyuma omulamuzi yakkirizza okuyimbula Amuriat ne ddereeva we ku kakalu ka mitwalo 50 buli omu ezitali za buliwo. Ddereeva kkooti yamulagidde agiwe ne kkopi ya ppamiti era olwakikoze n'abayimbula.

Omusango kkooti yagwongezzaayo, abawawaabirwa ne balagirwa okuddamu okweyanjula mu kkooti yeemu nga February 3, 2021.

Ye Amuriat yeewuunyizza poliisi okumuvunaana omusango gw'okuwuubira ku bawagizi be waggulu ku mmotoka ye kyokka nga baasoose kumusibira mu mmotoka ye ku poliisi y'e Kakumiro we yamaze kumpi essaawa nnya nga tebamutwala mu kkooti.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssemakula eyakiikiridde SSLOA  ng'avumirira ekikolwa kya KCCA okubawamba.

Abakulembeze ba Owino bavum...

ABAKULEMBEZE b'ebibiina ebikulira abasuubuzi eby’enjawulo mu katale ka St.Balikuddembe bivumiridde ekikolwa ky'okuwamba...

Ssaabasumba Lwanga (ku kkono) ng’awa ssanduuko ya Msgr. Kato omukisa.

Okuziika Msgr. Katongole ka...

BANNADDIINI ne bannabyabufuzi bavumiridde eby'okukwata abantu ne bakuumirwa mu bifo ebitamanyiddwa. Baalaze okutya...

Rebecca Kadaga.

Sipiika asazeewo ku bantu a...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga awadde olukusa ababaka ba Palamenti abava mu bitundu awali abantu abazze bakwatibwa...

Olega (akulembedde) ne banne.

Akabinja akatigomya ab'e Lu...

AKABINJA k’abasajja ababadde batta abantu mu bitundu by'e Luweero, Nakaseke, Nakasongola ne Wakiso bakafunzizza...

Waffle, ccapati erimu eggi, sosegi n’ekyokunywa.

Ssente azinoga mu kukola 'w...

Wali okedde ku makya nga tomanyi ky’oyinza kunywera ku caayi oba n’onoonya ekyokulya ekyangu ky’oyinza okuliira...