TOP
  • Home
  • News
  • Engeri corona gye yasse Dr. Kisamba Mugerwa

Engeri corona gye yasse Dr. Kisamba Mugerwa

Added 9th January 2021

Dr. Kisamba Mugerwa

Dr. Kisamba Mugerwa

OBULWADDE bwa corona bwongedde okweraliikiriza Bannayuganda bwe bwongedde okutta abantu awatali kusosola. Akyasembyeyo ye yali omubaka ow'essaza ly'e Bamunaanika mu Palamenti era abadde ssentebe w'ekitongole kya Gavumenti ekya Micro- Finance Support Centre, Dr. Kisamba Mugerwa.

Mugerwa 76, kigambibwa nti yafudde corona okusinziira ku booluganda n'emikwano egimubadde ku lusegere.

Minisita owa Microfinance, Haruna Kasolo Kyeyune yategeezezza Bukedde nti, Mugerwa abadde mulwadde wa corona era yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago mu kasenge k'abayi era ng'ali ku byuma ebimuyamba okussa.

"Kya nnaku nti tumufiiriddwa. Ntuusa okusaasira kwange eri abaffamire y'omugenzi n'abantu bonna mu ggwanga b'abadde akolagana nabo. Annyambye nnyo okutereeza n'okukuza ekitongole kyaffe ekya Microfinace Centre." Kasolo bwe yagambye. Kisamba Mugerwa yazaalibwa nga July 5, 1945 e Bamunaanika.

EBY'OKUZIIKA
Noordin Kasule, omu ku b'oku lusegere b'omugenzi yategeezezza nti, basuubira okuziika ku Mmande nga January 11 mu ku kyalo Kikonda mu muluka gw'e Kiteme mu ggombolola y'e Bamunaanika mu disitulikiti y'e Luweero ku biggya bya bajjajjaabe okuliraana amaka ge. Okuziika kwa kuba mu nkola ey'okugoberera amateeka ga Covid-19.


ENKOLA YA 'ENTANDIKWA'
Mugerwa eyakola nga minisita mu minisitule ez'enjawulo ajjukirwa okukyaka ennyo bwe yakulembera kaweefube w'okuggya abantu mu bwavu oluvannyuma lw'olutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza. Enkola ya Gavumenti eno mwe yayita yali eyitibwa 'Entandikwa'.

EBIFO MWE YAWEEREZA
Kisamba Mugerwa yaweereza nga Minisita owa guno na guli ng'ayita mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda, Minisita ow'ebyenfuna n'okuteekerateekera eggwanga era yaweereza nga Minisita w'ebyobulimi.

Gavumenti ya NRM bwe yajja mu buyinza, Mugerwa ye yasooka okulondebwa nga ssentebe wa disitulikiti y'e Luweero mu kisanja ekya 1986-1991.

Mu 1980, yeesimbawo era n'awangula okubeera omubaka mu palamenti owa Luweero South East nga yajjira ku kkaadi ya DP, newankubadde yakubwa essasi mu mukono wakati mu katuubagiro akaali mu kulonda kuno.

EBYENSOMA YE
Kisamba Mugerwa yasomera Wampeewo Junior Primary School e Bamunanika, oluvannyuma ne yeegatta ku Mukono Bishops Senior Secondary School gye yamalira S4 ate S6 n'agituulira ku Kololo High School e Kololo - Kampala. Oluvannyuma yeegatta ku Makerere University n'asoma ddiguli, eyookubiri n'eyookusatu eyitibwa Doctor of Phillosophy (PhD) mu Agricultural Economics.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...