TOP
  • Home
  • News
  • Omukazi agambibwa okubbibwako omwana mu takisi poliisi emukutte

Omukazi agambibwa okubbibwako omwana mu takisi poliisi emukutte

Added 9th January 2021

Nakyaze  maama w'omwana eyabbiddwa eyakwatiddwa ng'akaaba.

Nakyaze maama w'omwana eyabbiddwa eyakwatiddwa ng'akaaba.

POLIISI  ekutte omukazi  agiyambeko mu kunoonyerezza  ku mwana we ow'omwaka ogumu agambibwa okumubbibwako mu takisi.

Harima Nakyaze  20  ow'e Kazo  yakwatiddwa poliisi y'oku Kaleerwe agiyambeko  okunoonyerezza ku kubbibwa kw'omwana we,  Phabiorah Kalungi mu takisi ng'ava e Kayunga adda e Kampala.

Nakyaze yagenze ku poliisi  ne bba, Bernard Kalungi 24 omuvuzi wa takisi  ez'e Kampala - Mpereerwe ne baggulawo omusango ku fayiro nnamba SD REF: 17/08/01/2021 ogw'okubbibwa kwa muwala  waabwe.

Omwana Eyabbiddwa.

Oluvannyuma baalagiddwa okukola sitatimenti, era wano abaserikale   we baasinzidde okukwata Nakyaze .

Nakyaze yagambye nti  yali yabadde mu kyalo Kayunga -Kangulumira kulya Ssekukkulu bwe batuuse mu kyalo omwana n'alwala n'amutwala mu ddwaliro e Jinja ne bamuteekako eccupa z'omusaayi oluvannyuma ne babasiibula era  n'alinnya takisi nga January 5 omwezi guno  okudda e Kampala.

Yagasseeko nti mu takisi yasazzeemu omukazi omweru gwe yazze anyumya naye bwe  batuuse ku Kaleerwe okumpi ne nkulungo  ku ssaawa 2:00 ez'ekiro ne bavaamu bombi  n'amusaba amukwatire ku mwana  n'ensawo agende yeetawuluzeeko yagenz okudda ng'omukazi abuzeewo n'omwana n'ensawo .Nakyaze Eyakwatiddwa Maama W'omwana Eyabbiddwa.

Yagambye olw'okuba essimu baabadde bagibbye yafunye omuzira kisa eyamuyambye n'akubira bba n'amutegeeza ng'omwana bwe bamumubbyeko kyokka n'atwatwala buvunaanyizibwa kugenda ku poliisi kugitegeeza  okutuusa bba bwe yabitadde amaanyi. 

"Bannange sirina mupango gwonna omwana baamuzibbyeko,  omukazi  yali mweru, ensobi gye nakoze ku mwesiga ku lunaku lwe namulabye kuba nnabadde simumanyi''  Nakyaze bwe yalaajanye.

Kalungi yagambye nti mwana waabwe eyabbiddwa yasooka ng'omukazi abeera mu bazadde be,  ewuwe agendayo lwa lumu.

Yagasseeko nti ekisinga okumwewuunyisa, Nakyaze bwe yamukubira essimu nti omwana bamubbye yamugamba amusange ku Kaleerwe  ate yamusanga avuddewo n'atandika okumunoonya .


"Obuyambi mbadde mbuwa n'omwana bwe yalwalidde mu kyalo namuweerezza emitwalo 20 kati njagala ambuulire oba omwana yamugabidde musajja mulala nkitegeere kuba toyinza kungamba nti omukazi gw'otomanyi osobola okumukeera omwana obudde bw'ekiro " Kalungi bwe yategeezezza.

Yagambye nti ng'amaze okutegeera nti omwana we abuze yagenze ku poliisi Kawempe ne bamusindika e Kanyanya okutuusa bwe baamugambye agende ku y'oku Kaleerwe gye babbidde omwana.

Miriam Ato akulira bambega ku poliisi y'oku Kaleerwe yategeezezza nti okusinziira ku sitatimenti ya Nakyaze kwe baasinzidde okumusigaza abayambeko okufuna ekituufu  omwana gy'ali.

Ato yasabye abazadde okukomya okwesiga abantu be balabye olunaku olumu ne batuuka n'okubalekera abaana. 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...

SPC Faizal Katende.

SPC Faizal Katende eyakwati...

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti...

Ssentebe Sserwanga (alina enkumbi) ng'atema evvuunike ly'okuzimba eddwaaliro.

Gavumenti ewadde ab'e Kayun...

GAVUMENTI ewadde ab’e Kayunga obukadde bw’ensimbi 600 okugaziya eddwaaliro lya Busaale mu ggombolola y’e Kayunga...