
Brig. Gen. Michael Bbosa
Kitalo ! Brig. Gen. Michael Bbosa abadde akulira ebyempuliziganya ne tekinologiya mu ggye lya UPDF afudde.
Ono yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago akawungeezi k'eggulo.
Omwogezi w'eggye lya UPDF, Brig. Gen Flavia Byekwaso yakakasizza okufa kwa Bbosa era n'assa obubabaka obukubagiza ku mukutu gwe ogwa twitter bwati,'' Tukungubagira wamu ne ffamire mu kaseera kano akazibu ak'okuviibwako munnaffe ono era tusaba Katonda okutugumya ,'' bwe yagambye.
Entegeka z'okuziika tezinnamanyibwa.