
Trump
WADDE ng'ebula ennaku munaana Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump ave mu ntebe, ab'ekibiina kya Democrats ekya Joe Biden bongedde ggiya ennene mu nteekateeka ezimuggyamu obwesige.
Eggulo, aba DP baatuuzizza bukubirire olukiiko olw'ababaka abatono, engeri Palamenti gy'eri mu luwummula nga n'okuteesa kwabadde kwa kupapirira olw'okukola obwangu Trump aggyibwe mu ntebe ku kifuba ng'ennaku entono ezibulayo okugivaamu tannazituusa.
Ekigendererwa kya kumubonereza olw'okuduumira abeekalakaasi abaalumba Palamenti
yaabwe ku Lwokusatu oluwedde omwakafiira kati abantu bataano okuli abapoliisi babiri abaali batangira abeekalakaasi mu kibuga ekikulu Washington.
Akulembera oludda olusingako ababaka abangi mu Palamanti esookerwako eya
House of Representatives, Steny Hoyer yayanjudde enteekateeka y'okumuggyamu obwesige olwo Sipiika wa Palamenti eyo, Nancy Pelosi n'atandikirawo ‘okusamba
omupiira' ogugoba Trump nga buli muteesa assa kimu ne munne amuwadde akazindaalo.
Ekirala kye baagala nti singa Trump aggyibwamu obwesige, taliddamu kukkirizibwa kwesimbawo ku ofiisi yonna mu Amerika nga bw'abadde asuubirwa okuddamu
okwesimbawo ku Bwapulezidenti mu 2024.
Ebirala by'afiirwa mulimu okuggyibwako abakuumi ba Secret Service abakuuma eyaliko Pulezidenti wa Amerika n'omusaala aba takyafunye.
TRUMP ALI TEXAS
Bino okugenda mu maaso nga Trump ali Texas mu ssaza erisingako olukomera oluwanvu olwawula eggwanga eryo ne Mexico lwe yalagira okuzimbibwa mu kulonda
kwa 2016.
Trump agenzeeyo kulaba olukomera lwe yasuubiza ng'anoonya akalulu mu kulonda kwa 2016 lwe yavuganya ne Hilary Clinton we lutuuse.
Okulagira baluzimbe, Trump n'abeekibiina kye ekya Republican abalowooza nti Amerika y'Abamerika, balumiriza Abamexico okuyita ku nsalo ne beesogga Amerika nga tebakkiriziddwa ate ne bakolerayo empisa embi.
Wadde ng'ebyolukomera tebazzeemu kubinyegako mu kulonda kwa 2020 ng'attunka
ne Joe Biden, mu kulonda okwaliwo nga November 3, omwaka ogwo ng'abatunuulizi
bagamba nti byamwokya, lubadde lugenda mu maaso okuzimbibwa.
Olukomera lulina kuba lwa mayiro 1,954 ezaawula Mexico ne Amerika kyokka Trump yazimbyeko 450 zokka.
Ekyewuunyisa, olw'okuba ssente n'abakozi byonna weebiri abazimbi bakola ogwabwe,
Biden bw'anaatuula mu ntebe nga January 20, lw'alayira naye alina okuleka enteekateeka ezo okugenda mu maaso kyokka nga kuva dda taziwagira.
Ab'ekibiina kya DP ekiwagirwa Biden eby'olukomera baabiyita bya busosoze ne babiwakanya wabula kati bannansi balinze Biden ky'azzaako oba anaalagira
balekere awo okuluzimba oba abongera ssente luggweeyo.