TOP
  • Home
  • News
  • Nnamwandu alumirizza ssezaala we okubba amabugo n'ebintu bya bba

Nnamwandu alumirizza ssezaala we okubba amabugo n'ebintu bya bba

Added 13th January 2021

Nnamwandu Namulindwa ng'ali ne bamulekwa.

Nnamwandu Namulindwa ng'ali ne bamulekwa.

NNAMWANDU akalidde mu ssezaala we n'amulumiriza okwezibika ssente z'amabugo n'ebintu byabwe ebirala nga bba yaakakutuka.

Nnamwandu Oliver Namulindwa y'alumirizza ssezaala we, Maurice Kizza okubuzaawo embizzi z'omugenzi ttaano, ssente z'amabugo 430,000/-, pikipiki n'ebintu ebirala amangu ddala nga mutabani we afudde.

 Newankubadde Kizza agamba nti yatunda embizzi n'agattako ssente ez'amabugo ne zikola ku by'okuziika omugenzi, bino abataka baabisambazze nga bagamba nti baasonda ssente ez'enjawulo okukola ku byokuziika.

 Nnamwandu yatambudde mukungujjo ne yeesogga ennyumba n'aleeta ekitabo ekiraga ssente ezaasondebwa zonna okukakasa nti ssezaala by'ayogera byabulimba.

 Bino byabadde ku kyalo Kirimampoca 'A' mu ggombolola  y'e Kitimbwa mu disitulikiti y'e Kayunga.

Kasozi yafa kikutuko ku nkomerero ya December, 2020 era nga yaleka bamulekwa abawera ng' asembayo obuto wa myezi munaana.

Namulindwa Ng'annyonnyola Abakulu Mu Lukiiko.

Ssezaala Kizza

 Nnamwandu yeekubidde enduulu ewa RDC Margaret Mwanamoiza eyatumye Collins Kafeero alondoola ebintu by'abafu n'atuuza enjuyi zombi era nga n'abataka ssaako abapoliisi okuli atwala ensonga z'amaka, Hellen Alikoba ne Ssali Paul owa poliisi n'omuntu wa bulijjo olukiiko baalwetabyemu.

 Ssezaala agamba nti nnamwandu ye yatandika eby'okugabana ebintu bwe yatwala ente naye kwe kusalawo ebigabe.

 Kafeero asazizzaamu byonna ebyakolebwa n'agamba nti byakolebwa mu bumenyi bw'amateeka era n'alagira ensonga zitwalibwe ewa atwala ebintu by'abafu mu Uganda (Administrator general).

Hellen Alikoba owa poliisi y'amaka alabudde ab'enganda abanyigiriza bannamwandu n'alagira ssezaala aleete ssente z'amabugo n'ezaava mu mbizzi.

Owa poliisi n'omuntu wa bulijjo Ssali Paul agambye nti nnamwandu y'alina obuyinza ku bintu by'omugenzi.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga ng'ateeka ekimuli awaabadde ekifaananyi ky'omugenzi Fr. Ssonko. Omulambo tegwaleeteddwa olw'obulwadde bwa Corona.

Ssaabasumba alagidde Bafaaz...

SSAABASUMBA w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alagidde Bafaaza bonna mu ssaza ly'e Kampala...

Pulezidenti Museveni ne Mukyala we Janet ku mukolo e Ntebe.

Museveni mwetegefu okuteesa...

PULEZIDENTI Museveni akkiriza nga bwali omwetegefu okutuula n'abavuganya Gavumenti bateese ku biseera by'eggwanga...

Ng'ozimba oyinza okwekubira bbulooka oba okugula eziwedde.

Aguze bbulooka eziwedde n'a...

BULI muntu abeera n'ekika oba ekirooto ky'ennyumba gy'ayagala okuzimba. Mulimu ababituukiriza kyokka abamu ne balemererwa...

Ono bamukubye akalulu e Men...

KATEMBA abadde mu kifo awagattirwa obululu e Kololo owa NRM Kayigo Kikulwe abadde yeeyita America olw'amaanyi ge...

Bobi Wine ne Barbie lwe baagenda okwewandiisa.

Barbie alojja ennaku gy'ala...

Barbie Itungo Kyagulanyi muk'omukulembeze w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu alojja ennaku gy'alabidde...