TOP
  • Home
  • News
  • Nakibinge atuuzizza aba famire ya Muzaata abaagenze mu kkooti

Nakibinge atuuzizza aba famire ya Muzaata abaagenze mu kkooti

Added 13th January 2021

OMULANGIRA Kassim Nakibinge ayingidde mu nsonga za bannamwandu ba Sheikh Nuhu Muzaata Batte abaagenze mu kkooti okugabana ebyobugagga by'omugenzi.

Bino Nakibinge yabitegeezezza ggulo abaabadde mu Dduwa ya Muzaata e Kigoogwa gye yaziikibwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti ye Wakiso.

Edduwa yeetabiddwaako Supreme Mufti Haji Siliman Kasule Ndirangwa, bannabyabufuzi okwabadde Loodi Mmeeya Erias Lukwago n'abantu abalala.

Bannamwandu okuli Amina Bugirita Muzaata gwe yasooka okuwasa wabula ne baawukana n'awasa Kuluthum Muzaata baabaddeyo.

Kuno kwossa abamu ku baana okuli Hadijah Nabakembo, Annuali Muzaata Ssessanga ne Shafick Muzaata.

Okusaala kwakulembeddwa Supreme Mufti Ndirangwa eyazzeemu okwoza ku mmunye mu kusabira Muzaata nga bwe yakola e Kibuli mu kumusaalira.

Bugirita Ng'asonze Mu Waamawulire.

  Kuluthum (ku Kkono) Ne Mukwano Gwe Mu Dduwa.

Annuali Muzaata (ku Ddyo) Ne Bataata Be. Ku Kkono Ye Hajji Badru Kakembo Owooluganda Lwa Muzaata Ng'ayogera Eggulo.

Mu bubaka bwe, yazzeemu okulaga engeri Muzaata gye yalwanirira ennyo Obusiraamu era ne yeebaza Omulangira Nakibinge olw'okubagumya.

KKOOTI TEGENDA KUGONJOOLA NSONGA ZA MUZAATA - NAKIBINGE
Omulangira Nakibinge yasoose kwebaza abantu bonna abazze n'abaateeseteese Dduwa
eno kyokka ne yennyamira olwa bannamwandu abakaayanira ebyobugagga bya Muzaata ne batuuka n'okugenda mu kkooti.

Yategeezezza nti kkooti tegenda kusala musango guno, wabula okutundanga ettaka lya Muzaata nga buli balooya bwe baba baagala ssente. Yategeezezza abaagenze mu
kkooti nti Muzaata yalaama ebintu bye bigabibwe mu nkola ya Sharia era kino kye kyagobererwa.

Yagambye nti agenda kubanoonya basooke batuule mu nsonga zino kwe kubasaba babeere bakkakkamu.

‘GAVUMENTI MULEKE KUTEEKA BANTUKU BUNKENKE'
Omulangira Nakibinge yasabye gavumenti ereme kuteeka bantu ku bunkenke olw'ebyokulonda eby'olunaku olumu. Yasabye akakiiko k'ebyokulonda okubeera akeerufu, akalulu kakubwe mu mirembe.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobi Wine ne Barbie lwe baagenda okwewandiisa.

Barbie alojja ennaku gy'ala...

Barbie Itungo Kyagulanyi muk'omukulembeze w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu alojja ennaku gy'alabidde...

Omugenzi Tamale lwe baamukwatira mu bumenyi bw'amateeka.

Gwe baakutte ng'abba e Kawa...

ABATUUZE b'e Kawanda bataayiizza omuvubuka abadde mu kibinja ky'ababbi ne bamukuba ne bamutta ne bamulesa bbebi...

Omubaka Kayemba.

Ebbeeyi y'emmwaanyi, amalwa...

Omubaka omulonde owa Bukomansimbi South, Geoffrey Kayemba Solo agambye nti baakugenda mu maaso n’okugoberera ebiragiro...

Babiri balumiziddwa mu kabe...

Abantu babiri ababadde batambulira ku bodaboda emmotoka ewabye n’ebatomera okukakkana ng’omu emumenye okugulu n’omulala...

Jimmy Kamya.

Bakansala b'e Gaba be baasa...

Bya BENJAMIN SSEMWANGA ABAKULEMBEZE e Gaba mu munisipaali y'e Makindye basabye akakiiko k'ebyokulonda okwekennenya...