TOP
  • Home
  • News
  • Eyali minisita Kisamba Mugerwa aziikiddwa

Eyali minisita Kisamba Mugerwa aziikiddwa

Added 13th January 2021

Christine Kisamba (wakati), mu kuziika bba Kisamba.

Christine Kisamba (wakati), mu kuziika bba Kisamba.

PULEZIDENTI Museveni atenderezza musajja e, Dr. Wilberforce Kisamba Mugerwa gwe yagambye nti, amwenyumirizaamu olw'okweyambisa amagezi n'obukugu bwe okutandikawo pulojekiti ez'enjawulo ez'omugaso mu gavumenti n'ebitongole bya nnekolera gyange ezikyusizza embeera z'abantu baabulijjo mu ggwanga.

Yanokoddeyo nti, bwe yali minisita w'ebyobulimi n'obulunzi, yafuba okufuula ebyobulimi eky'obusuubuzi era ng'obukugu bwabadde nabwo obw'enjawulo abukozesezza n'asukkuluma mu buli kye yakwatako engalo omuli n'okusitula abantu mu by'enjigiriza, ebyobufuzi n'ebyobusuubuzi.

Museveni era yategeezezza nti Kisamba Mugerwa abadde kya kulabirako mu bukulembeze obulengera ewala bwalaze nti kisoboka omuntu okutuuyana n'atuuka ku birungi nga tayise mu kukumpanya n'okwagala eby'amangu n'asaba abavubuka abaagala eby'amangu okumulabirako.

Kisamba  Mugerwa

Bino byabadde mu bubaka bwe obwasomeddwa minisita avunaanyizibwa  ku matendekero aga waggulu, Dr. JC Muyingo mu kuziika omugenzi ku kyalo Kikonda mu ggombolola y'e Bamunaanika mu Luweero.

Ssaabalabirizi Steven Kazimba Mugalu yategeezezza nti omugenzi Kisamba agasizza ekitundu gy'ava, ekkanisa n'eggwanga n'asaba abayivu n'abalina ensimbi okumulabirako baleme kwegasa bokka.

Omulabirizi wa Luweero, Eridard Kironde Nsubuga yategeezezza nti omugenzi Kisamba Mugerwa abadde mukozi, omuyivu, ayagala Katonda n'azimba amasinzizo ag'enzikiriza ez'enjawulo era atatya kwogera kimuli ku mutima ne kimuyamba obutabeera munnanfuusi.

Omusumba w'essaza lya Kasana Luweero, Paul Semwogerere yasiimye omugenzi olw'obutabba bya bugagga bya ggwanga kwegaggawaza n'okukubiriza abantu okwekolera ng'ayita mu kubajerega ne balowooza nti abaduulira.

COVID 19 MUMWEGENDEREZE
Omugenzi baagambye nti yafudde Covid 19 era omulambo gwe gwatuuse ku ssaawa ya kuziika ne gutwalibwa butereevu ku ntaana wakati mu miranga n'okwaziirana era abakulembeze baasabye abantu okukwata amateeka g'ebyobulamu okutangira obulwadde buno. 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...