TOP
  • Home
  • News
  • Baze bwe baamusiba muggya wange n'ansuulira abaana

Baze bwe baamusiba muggya wange n'ansuulira abaana

Added 13th January 2021

Aikolu

Aikolu

NZE Harriet Aikolu 33, mbeera mu Kazo Angola ku Keeti Falaawo. Twasisinkana ne baze emyaka etaano emabega nga ntunda mwenge ate nga ye musuubuzi era yali omu ku bakasitoma bange be naguzanga omwenge.

Nga wayise ebbanga, yatandika okukola ebikolwa ebiraga nti yali anjagadde mu laavu era ng'omuntu omukulu, namanya naye ne nninda akyatule oba ankwane. Engeri gye nnali maze ebbanga ng'ebyabasajja nabivaako, nakkiriza mangu olw'ennyonta ya laavu gye nnali nnina.

Nga wayise akaseera nga tuli mu mapenzi, baze yantegeeza nga bwe yalina omukyala n'abaana basatu okuli n'abalongo. Nasooka ne ntyamu wabula engeri gye nali mmaze okufuna olubuto naguma era ne tugenda mu maaso nga nze nnamba bbiri.

Nnazaala omwana ne tubeerawo mu mbeera yonna naye obuzibu bugenda bujja omwami waffe n'akwatibwa n'asibibwa mu kkomera ng'ateeberezebwa okukozesa ebiragalalagala.

Omwami nga yaakamala omwezi mu kkomera, muggya wange yandeetera abaana nti mbeere nabo ye talina kyakubaliisa era n'agenda gye saamanya.

Bwentyo natandika okulabirira abaana nga nnina essuubi nti luliba olwo baze ne bamuta naye kirabika taliteebwa.

Nsanze obuzibu okulabirira abaana be sizaala olw'ebigambo by'abantu. Omwana ne bw'oba tomuyisa bubi batandika okubijweteka nga bw'omutulugunya.

Naye kati ntuuse we nkoma kubanga sikyalina kye mbaliisa kati mwaka mulamba nga baze ali mu kkomera. Nsaba kumpa ku magezi.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ono bamukubye akalulu e Men...

KATEMBA abadde mu kifo awagattirwa obululu e Kololo owa NRM Kayigo Kikulwe abadde yeeyita America olw'amaanyi ge...

Bobi Wine ne Barbie lwe baagenda okwewandiisa.

Barbie alojja ennaku gy'ala...

Barbie Itungo Kyagulanyi muk'omukulembeze w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu alojja ennaku gy'alabidde...

Omugenzi Tamale lwe baamukwatira mu bumenyi bw'amateeka.

Gwe baakutte ng'abba e Kawa...

ABATUUZE b'e Kawanda bataayiizza omuvubuka abadde mu kibinja ky'ababbi ne bamukuba ne bamutta ne bamulesa bbebi...

Omubaka Kayemba.

Ebbeeyi y'emmwaanyi, amalwa...

Omubaka omulonde owa Bukomansimbi South, Geoffrey Kayemba Solo agambye nti baakugenda mu maaso n’okugoberera ebiragiro...

Babiri balumiziddwa mu kabe...

Abantu babiri ababadde batambulira ku bodaboda emmotoka ewabye n’ebatomera okukakkana ng’omu emumenye okugulu n’omulala...