TOP
  • Home
  • News
  • Agambibwa okugezaako okufumita omusuubuzi ekiso poliisi emukutte

Agambibwa okugezaako okufumita omusuubuzi ekiso poliisi emukutte

Added 13th January 2021

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Kasibante ku mpingu ng'akwatiddwa.

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa.

Yasin Kasibante akola ogw'okusiba  ente mu lufula y'oku Kaleerwe y'akwatiddwa poliisi y'omu kitundu oluvannyuma  lwa Anet Namwanje alina wooteeri mu lufula  omuwaako obujulizi nga bwe yamuggyiddeyo ekiso amufumite  n'akuba enduulu  bantu ne mutaasa.

Namwanje Eyasimattuse Okufumitibwa.

Emimwa Gya Namwanje Egyayasiddwa

Namwanje  yagambye  nti Kasibante   yamusabye caayi ku ssaawa 2:00  ez'ekiro bwe yamugambye  nti amuddeko n'atandika okumuwemula ssaako n'omukuba n'amwasa emimwa yalabye tekimumalidde n'amuggyiraayo  ekiso okumufumita.

 Kasibante yategeezezza nti    kituufu Namwanje yamukubye  n'ekiso yakimuggyiddeyo naye yabadde tagenda kumufumita nga bwamulumiriza.

Yagasseeko nti y'akuuma olugo omusula ente naye waliwo abavubuka abaagufuula omuze okutwalayo abawala ne beerigomba nga yabadde amaanyi nti Namwanje kye kimututte kwe yasinzidde okumukuba.

Geoffrey Ssenonga omu ku bakulira ebyokwerinda mu lufula yategeezezza nti Kasibante  azze akwatibwa lwa kuggyirayo bantu biso nga luno singa tebaamwanguyidde yabadde agenda kufumita Namwanje awatali nsonga nnambulukufu.

Yalabudde abakinjagi bonna okukomya okukozesa ebiso ng'eky'okulwanyisa eri abantu kuba ekiso kisala  nte si bantu. Omusango guli ku Fayiro nnamba SD REF:18/5/01/2021

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobi Wine ne Barbie lwe baagenda okwewandiisa.

Barbie alojja ennaku gy'ala...

Barbie Itungo Kyagulanyi muk'omukulembeze w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu alojja ennaku gy'alabidde...

Omugenzi Tamale lwe baamukwatira mu bumenyi bw'amateeka.

Gwe baakutte ng'abba e Kawa...

ABATUUZE b'e Kawanda bataayiizza omuvubuka abadde mu kibinja ky'ababbi ne bamukuba ne bamutta ne bamulesa bbebi...

Omubaka Kayemba.

Ebbeeyi y'emmwaanyi, amalwa...

Omubaka omulonde owa Bukomansimbi South, Geoffrey Kayemba Solo agambye nti baakugenda mu maaso n’okugoberera ebiragiro...

Babiri balumiziddwa mu kabe...

Abantu babiri ababadde batambulira ku bodaboda emmotoka ewabye n’ebatomera okukakkana ng’omu emumenye okugulu n’omulala...

Jimmy Kamya.

Bakansala b'e Gaba be baasa...

Bya BENJAMIN SSEMWANGA ABAKULEMBEZE e Gaba mu munisipaali y'e Makindye basabye akakiiko k'ebyokulonda okwekennenya...