TOP
  • Home
  • News
  • Ab'e Jinja Kalooli batabukidde abakulembeze lwa butafuna butimba bwa nsiri

Ab'e Jinja Kalooli batabukidde abakulembeze lwa butafuna butimba bwa nsiri

Added 13th January 2021

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri.

Kino kiddiridde abatuuze okweyiwa mu bungi awaabadde wagabirwa obutimba kyokka ssentebe n'akabatema nga bwe batagenda kufuna olw'ensonga nti tebawandiikiddwa ekibaggye mu mbeera.

Ssentebe Andrew Kasatiiro yakanze kubawoyaawoya nga butereere era bano basazeewo okutuula awabadde wagabirwa obutimba abamu ne balemera mu nnyiriri ze babadde basimbye ekyalwisizza abaabade balina okufuna obutimba.

Kasatiiro ategeezezza nti obuzibu buno bwavudde ku gavumenti etaabawadde budde bumala kuwandiika bantu ate era nga tebafunye na kumanyisibwa kumala ku nsonga y'okugaba obutimba, bangi batuuka okwewandiisa nga tebaliiwo bagenze dda ku mirimu gyabwe.

Ayongerako nti omuwendo gw'abantu abaabalibwa okuweebwa obutimba gwali munene okusinziira ku butimba obwamuweereddwa. 

Asabye gavumenti okwongezaayo ku lunaku z'okugaba obutimba era n'okubongera ku butimba abantu baabwe basobole bulyomu okufuna.


  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Tamale lwe baamukwatira mu bumenyi bw'amateeka.

Gwe baakutte ng'abba e Kawa...

ABATUUZE b'e Kawanda bataayiizza omuvubuka abadde mu kibinja ky'ababbi ne bamukuba ne bamutta ne bamulesa bbebi...

Omubaka Kayemba.

Ebbeeyi y'emmwaanyi, amalwa...

Omubaka omulonde owa Bukomansimbi South, Geoffrey Kayemba Solo agambye nti baakugenda mu maaso n’okugoberera ebiragiro...

Babiri balumiziddwa mu kabe...

Abantu babiri ababadde batambulira ku bodaboda emmotoka ewabye n’ebatomera okukakkana ng’omu emumenye okugulu n’omulala...

Jimmy Kamya.

Bakansala b'e Gaba be baasa...

Bya BENJAMIN SSEMWANGA ABAKULEMBEZE e Gaba mu munisipaali y'e Makindye basabye akakiiko k'ebyokulonda okwekennenya...

Otuba ng'afuna obujjanjabi mu ddwaaliro e Naggalama.

Babiri balumiziddwa mu kabe...

Abantu babiri ababadde batambulira ku boodabooda emmotoka ewabye n’ebatomera okukkakkana ng’omu emumenye okugulu...