
Abamu ku b’eng’anda z’abaafudde nga baaziirana.
DOREEN Namutebi 32, afudde alaajana mu muliro ogumusse n'abaana bana e Katooke-Nansana. Moses Ssebadduka nga ye bba wa Doreen asimattuse n'ebisago.
Bafiiridde bwereere kubanga ekigendererwa ky'omutemu eyayokezza enju mwe baabadde, kyabadde kutta mukazi we Prossy Nanyombi eyanoba.
Nanyombi abadde mukwano gwa Doreen era bwe yanoba (Nanyombi) yatuukira wa Doreen n'omwana we Trevor Sseguya (naye eyafudde mu muliro).
Bba wa Nanyombi (amannya galekeddwa) gwe balumiriza okutta abantu bano bwe yamanya mukazi we we yanobera n'atandika okubatiisatiisa.
Bonna babeera Katooke. Okutuukayo okyamira Kawempe ku 5, oba Nabweru n'ogenda e Lugoba awali ery'e Katooke.
Nanyombi yamala ennaku ntono ewa Doreen n'agenda kyokka n'alekawo omwana we Trevor.
Ssebadduka eyayidde emikono gyombi agamba nti mu kiro ekyakeesezza eggulo, yawulidde ekintu ekikoona mu ddiiro mu ttumbi. Doreen yavudde mu kisenge n'agenda mu ddiiro awasula abaana ku katanda ka ‘ddeeka'. Yasanze omuliro gwaka n'awoggana.
Ssebadduka yawondedde omukazi ne bafuba okuzikiza omuliro. Okukkakkana nga Doreen afudde.
Abalala abaafudde kuliko; abaana ba Doreen ne Ssebadduka basatu- Aisha Birungi 14, Genesis Nanyonjo 8, ne Israel Ntulume ow'emyaka 7. Gattako Trevor Sseguya 9, azaalibwa Nanyombi.
Poliisi yatutte emirambo e Mulago. Ssebadduka naye yatwaliddwa e Mulago okujjanjabibwa.
Nanyombi yategeezezza Bukedde nti yafuna obutakkaanya ne bba ku nkomerero y'omwaka oguwedde kyokka teyalowooza nti alina ebbuba oba obusungu okumutuusa okutta abantu mu ntiisa.
Baliraanwa ba Doreen baategeezezza nti bba wa Nanyombi abadde yeetawula ewa Doreen ng'ayagala mukazi we addeyo n'atiisatiisa okubakolako obulabe. Nanyombi teyayogedde kyabatabula ne bba.
Ssentebe wa LC1 Katooke B, Ying. Stephen Kaweesa yagambye nti bali mu kunoonya bba wa Nanyombi bamukwase poliisi.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Oweyisigire yategeezezza nga bwe waliwo omuntu eyeetutte ku poliisi e Katooke ne yeeroopa nti ye yayokezza abantu abo. N'agattako nti okunoonyereza kugenda mu maaso.
Yavumiridde ebikolwa by'ettemu n'awa amagezi buli aliko obutakkaanya, ensonga aziroope ku poliisi mu kifo ky'okutwalira amateeka mu ngalo.