
Nancy Kalembe omukazi yekka eyeesimbewo ku bwapulezidenti.
EYABADDE avuganya ku bwa pulezidenti Nancy Linda Kalembe agambye nti si mumativu n'ebyo akakiiko k'ebyokulonda ke byalangiridde ku bukulembeze bw'eggwanga.
Nancy agambye nti gavumenti yagyeeko yintanenti kwe bandibadde bayita okugoberera akalulu bwe katambula olwo abakulu mu gavumenti nebakozesa omukisa ogwo okukwata mu kalulu.
Ono agambye nti akkiriziginya ne Bannayuganda abasinga obungi abawakanya ebyavudde mu kalulu, kyokka agambye tagenda kugenda mu kkooti kuwaaba kubanga nayo tajja kufunayo mazima.
Yeebazizza bonna abaamuyambye ne bamuwa ssente bwe yabadde anoonya ssente okutambuza kampeyini ze nabo abaamwegattako mu kusiiba n'okusabira eggwanga.
Kyokka agambye nti ssinga Pulezidenti Museveni an'amuwa ekifo mu gavumenti ajja ku kitwala aweereze abantu.