TOP

Ababaka abayise mu ttanuulu

Added 19th January 2021

Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni nga bamulangira ku buwanguzi bw’ekifo ky’omubaka wa Mukono North.

Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni nga bamulangira ku buwanguzi bw’ekifo ky’omubaka wa Mukono North.

ABABAKA bamu okuyingira palamenti bakumyumya nga lutabaalo, kubanga yabadde nsiitaano nga baabuuse ebiwonvu n'emigga.

Hajjati Aisha Kabanda eyawangudde eky'omubaka omukazi owa Butambala yasuulawo omulimu gwa RCC wa Kampala ne yeesimbawo mu 2016 ku ttikiti y'ekibiina kya NRM naye Lydia Mirembe n'amuwangula.

Embeera eyaliwo yamuwaliriza okusuulawo kaadi ya NRM nga ku mulundi guno avuganyirizza ku kaadi ya NUP era n'awangula.

Abudalla Kiwanuka Mulimamayuuni waatuukidde okuwangula ekifo ky'omubaka wa Mukono North ng'alozezza ku bukambwe obwenjawulo mu ngeri ezitali zimu.
Ono munnamateeka ng'akolera mu kkampuni ya Lukwago and Company Advocates.

Teddy Nambooze

Yasooka okuyingira ebyobufuzi ng'ali mu KCCA mu 2017 ng'olukiiko lwa KCCA bwe lwali luggyamu Lukwago obwesige yali omu ku bannamateeka abaali bawolereza Loodi
Meeya Erias Lukwago abaagenda mu kkooti okuyimiriza okumuggyamu obwesige.

Wabula bwe yali atutte ekiwandiiko abaserikale abakuuma KCCA baamukwata ne baamuyuliza engoye era munda singa yali talinaamu ka pajama yandisigadde bukunya.

Wabula bino bigenda okubaawo yali avuganyizzaako mu kalulu ka Mukono North mu 2016 ne Minisita Ronald Kibuule n'akwata ekifo kyakusatu.

Wabula ku mulundi guno yayongedde okutegeera nti ebyobufuzi si muzannyo nga kino tekyatuuse ku ye yekka wabula n'abawagizi be.

                             Aisha Kabanda 1

Nga kampeyini zikutte akati waliwo abaserikale abaali batambulira mu ttakisi ezaakazibwako erya "drone" abaalumba abawagizi be abaali mu lukungaana lwe yali akubye e Katoogo ne babakuba emiggo nga guno si gwe gwali omulundi ogusoose.

Kiwanuka era abadde tava ku poliisi ne kkooti ng'anunula abawagizi be ababeera bakwatiddwa abamu nga bawambibwa nga n'okulonda kwagenze okubaawo nga tebamanyi gye bali.

Minisita Kibuule amulwanyisizza okutuuka ku lunaku olusembayo era nga ne mu kulangirira kigambibwa nti waliwo abaserikale abaalumbye ekifo we bagattira obululu kyokka DPC wa Mukono, Abubakar Musiho n'akola omulimu gwe embeera n'edda mu nteeko.

Muhammad Ssegiriinya (Mr. Update) eyawangudde eky'omubaka wa Kawempe North, y'omu ku basajja abasanze akaseera akazibu okutuuka ku buwanguzi buno.

Ssegiriinya oyinza okumwogerako ng'omusajja eyeerandiza yekka. Yatandikira ku kukuba masimu ku leediyo era nga yamanyibwa nnyo ng'eddoboozi ly'e Kyebando.

Mu 2016 yeesimbawo okukiikirira Kawempe North mu KCCA era n'awangula. Yatandika enkola y'okuvaayo n'alwanirira buli kye yalowoozanga nti kinyiga
abantu. Abadde alabikira nnyo mu kwekalakaasa olw'enguudo embi n'amataba agabadde gasalako ekitundu ky'e Kawempe.

Abayise Mu Tanuulu

Sseggirinya era ajjukirwa lwe yeetikka ttivvi ku mutwe azitwale ku palamenti oluvannyuma lwa gavumenti okussaawo etteeka ly'okusasula omusolo gwa ttivvi.
oluvannyuma lw'okuzizza ku nkola ya Digital.

Ssegiriinya ajjukirwa olunaku lwe yatwalira abaserikale ppoti z'abaana abato ng'agamba baali bagumbye mu maka ga Kizza Besigye kyokka nga tebalina kaabuyonjo gye bagendamu.

Yasindikako ekigaali ng'ataddeko emigaati gye yali aguze ng'agamba nti yali agitwalira balwadde mu ddwaaliro e Mulago abaali bafa enjala kyokka poliisi n'emukwata.

Ssegiriinya lumu yasena amazzi g'emyala ku Kaleerwe agaali ganjaala n'agateeka mu bidomola agatwalire eyali dayirekita wa KCCA, Jennifer Musisi kyokka poliisi y'e Wandegeya n'emukwata. Bino byaliwo mu 2017. Owa poliisi Wakisaada eyamukwata yategeeza nti yamutulugunya era n'amuwawaabira mu kakiiko k'eddembe ly'obuntu.

Lumu yagula eddagala n'alitwala mu ddwaaliro ekkulu e Masaka kyokka bwe yatuukayo abaddukanya eddwaaliro bamuyitira abaamagye okuva mu nkambi y'e Kasijjagirwa abaamutwala entyagi era emmotoka baagimusanza busanza n'engatto
kuba yafubutuka ekikumi n'adduka.

Waliwo abaserikale lwe baamukuba n'azirika nga yeekalakaasa e Bwaise ng'ayagala abavunaanyizibwa ku kitundu kino okukola oluguudo lwa Mambule olwali lujjudde ebinnya wano abawagizi be beebamuyoolayoola okumutwala mu kalwaliro ak'okumpi naye agamba nti ekirungi mu kaseera katono oluguudo lwakolebwa era luli mu mbeera nnungi.

Akasinga okusesa ennyo abantu kaali mu biseera bya togikwatako bwe yalumba ku palamenti nga yeesibye obuwero obumyufu ku mutwe, emikono ne ku magulu
okwekalakaasa kyokka poliisi n'emutwala ntyagi ng'emisinde gye yadduka gyewuunyisa abantu.

Teddy Nambooze eyawangudde oky'omukazi mu disitulikiti y'e Mpigi azze yeesimbawo naye nga tayitamu kyokka kino tekyamutengula.

Yasooka kuvuganyaako ku ky'omubaka omukazi owa Butambala disitulikiti n'agwa mu
2016 n'avuganya ku ky'omubaka wa Mpigi disitulikiti era akalulu ne kamuyisa bubi, naye NUP bwe yajja yayanguwa mangu okwekwata kaadi era ye yamuyambye okumegga Nakawunde Temulanda.

Yusuf Nsibambi owa Mawokota South naye we yayise tewaabadde wangu. Abawagizi be bazze bagobagana ne poliisi wamu n'okubakuba emiggo era bangi bazze bafuna
ebisago.

Waliwo akatambi akaasaasaana ku mikutu gya yintaneeti nga kalaga abaserikale abaasanga abawagizi ba Nsibambi nga bali ku mmotoka waggulu ne babasuulira
emisanvu mu kkubo ne babakuba emiggo egyabaleka nga banyiga biwundu.

Abawagizi be bazze bakwatibwa ne bayimbulwa era abadde tava ku poliisi. Nsibambi abadde musajja mukujjukujju nnyo mu kalulu kano kuba mu disitulikiti y'e Mpigi yekka
ye yasobodde okuyitamu naye nga ekyamuyambye okuyitamu yalangirira mangu nti awagira Kyagulanyi abawagizi be ne bakitegeera.

Wakayima Musoke yeesimbawo mu 2016 wabula yakoma ku munaabo kuba oluvannyuma lw'obuwanguzi bwe omubaka abaddeyo Kibirige Ssebunnya yamutwala mu kkooti olw'amannya ge obutakwatagana na biwandiiko bye eby'obuyigirize.

Omusango kkooti bwe yagusala teyakkiriza kuddamu kulonda baalangirira
bulangirizi Ssebunnya era Wakayima n'asalawo okumulinda mu 2021 era bulijjo akola butaweera okulaba ng'akalulu akawangulira waggulu nga bwe yakikoze ku
ky'omubaka wa munisipaali y'e Nansana.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...