TOP
  • Home
  • News
  • Olutalo lwa NUP ne NRM luzze ku ka Mmeeya ne LC5

Olutalo lwa NUP ne NRM luzze ku ka Mmeeya ne LC5

Added 19th January 2021

Nabilah ne Lukwago

Nabilah ne Lukwago

OLUVANNYUMA lwa NRM ne NUP okuvuganya ennyo mu kalulu ka Pulezidenti n'ababaka ba palamenti, kati olutalo luzze ku kifo kya Bammeeya b'ebibuga ne bassentebe ba disitulikiti abalondebwa enkya ku Lwokusatu.

Ebifo ebigenda okulondebwa kuliko; bassentebe ba disitulikiti 146, Loodimmeeya wa Kampala, Bammeeya ba ‘City' okuli; Jinja, Mbale, Masaka, Hoima, Mbarara, Gulu, Lira, Fort Portal ne Gulu ne bakkansala ba disitulikiti.

Namayanja

Mu Kampala, NUP ereese Nabilla Naggayi ate NRM Daniel Kazibwe (Ragga Dee). Akalulu kalimu ne Joseph Mayanja Chameleon. Ssaalongo Erias Lukwago owa FDC alina enkizo okweddiza ekifo kino kyokka asattira lwa muyaga gwa NUP ogwasudde abanene abasinga naddala mu Buganda.

NUP yawangudde ebifo by'ababaka ba palamenti 54 mu Buganda mwe yazingidde baminisita11 okuli omumyuka wa pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi.

Yusuf Nsibambi eyawangudde Mawokota South yagambye nti Kampala gwe mutima gw'eggwanga yeetaaga okulondera Loodimmeeya alina obusobozi n'obumanyirivu.

Obumanyirivu Lukwago abulina kyokka Nabillah naye aludde mu byobufuzi bya Kampala ng'omubaka omukazi owa Kampala okuva mu 2006. Kazibwe (Raggae Dee) naye akomyewo gwakubiri okuvuganya ku kifo kino. Mu 2016 yawangulwa Lukwago.

OKUVUGANYA E MASAKA
E Masaka, NRM ereese Ezra Mugabi Kanyana agenda okuttunka ne Andrew Lukyamuzi Batemyetto owa NUP ne Gerald Ntuuwa atalina kibiina.

NRM ebadde n'amaanyi e Masaka wadde ng'ekifo kya ssentebe kibaddemu Jude Mbabaali (DP), kyokka omuyaga gwa NUP gwayeze abanene era Kyagulanyi yawangulidde waggulu mu kitundu kino. Batemyetto awera okuwangula wabula ne Mugabi awera.

Ssemakula W'e Mukono

Abanene ba NUP bava Masaka okuli; Mathias Mpuuga omumyuka wa ssentebe mu Buganda ne Florence Namayanja. Bano amaanyi gaabwe gawa Batemyetto enkizo.

E KYOTERA ERIYO 4
E Kyotera, DP yalaze amaanyi mu kalulu k'ababaka. Eyawangudde Kyotera ye John Paul Lukwago Mpalanyi (DP), eky'omubaka omukazi kyatwaliddwa Fortunate Rose Nantongo (DP) ate essaza ly'e Kakuuto lyawanguddwa Geoffrey Lutaaya(NUP) eyawangudde Christopher Kalemba (NRM).

NRM erwana kuyisaamu Charles Lubega Ziriddamu ku kya ssentebe wa LC5. Kyokka NUP emutaddeko Mohammad Muwonge. Abalala abavuganya ye Charles Lubega Ssekabira (FDC) ne ssentebe aliko Patrick Kintu Kisekulo. Kisekulo ali wamu n'aba DP abaawangudde era akyayinza okweddiza entebe.

                     

E RAKAI BAZZE 7
Okuvuganya okwamaanyi kuli wakati w'abantu basatu okuli Godfrey Bazungu (NRM), Samuel Kaggwa Ssekamwa atalina kibiina n'owa NUP Eriabu Ssango.

Wadde omuyaga gwa NUP gwayeze abanene mu Buganda kyokka e Rakai ebifo eby'ababaka, byatwaliddwa NRM okuli Kooki eyawanguddwa Boaz Kasirabo ne Buyamba eyawangulwa Gyaviira Ssemwanga eyayitamu nga tavuganyiziddwa.

Ate eky'omubaka omukazi kyawanguddwa Juliet Ssuubi Kinyamatama eyavuganyizza ku bwa nnamunigina wadde nga muwagizi wa NRM.

Abalala ye Robert Nyondo (talina kibiina), Nicholas Ssekitende (FDC), Ali Balyekye (talina kibiina) ne John Kasiiba (talina kibiina).

Meeya Ne Lcv

E LWENGO
Okuvuganya kuli wakati wa Ibrahim Kitatta (NRM), Joseph Balikuddembe owa NUP, Emmanuel Mwesigwa ne Christopher Ssensalire abatalina bibiina. NUP yafunye omubaka omu Dr. Twaha Kagabo (Bukoto South). Abalala ba NRM.

BUKOMANSIMBI BAZZE 7
Ekifo kibaddemu Muhamad Kateregga eyasalawo okuvuganya ku ky'omubaka wa Bukomansimbi North. NUP yawangudde ebifo by'ababaka byonsatule ate DP eky'omubaka omukazi.

Abavuganya ennyo kuliko owa NRM Julius Bulegeya ne Fred Kayiira Nnyenje atalina kibiina. Gattako Musa Mbaziira eyali omumyuka wa ssentebe wa disitulikiti eno ne Andrew Mutebi (DP), Olix Yiga, Hassan Lukoda Ssewaya ne Hussein Kimbugwe abatalina kibiina.

E KALUNGU OWA NRM AWERA KUKYEDDIZA
Ssentebe aliko Richard Kalyamaggwa Kyabaggu (NRM) alwana okweddiza ekifo kye yaakamalamu ekisanja kimu. Avuganya ne Kamaadi Nyombi Mukiibi omusomesa wa siniya ali ku kkaadi ya NUP ne Mathias Kintu Musoke abadde omumyuka wa RDC e Ssembabule eyesimbyewo ku bwannamunigina.

BAKALUBA AYAGALA KUTWALA MUKONO
Ekifo kya ssentebe wa Mukono kivuganyizibwako basatu okuli Andrew Ssennyonga Luzindana ssentebe aliko eyazze talina kibiina, Hajji Haruna Ssemakula owa NRM ne Rev. Peter Bakaluba Mukasa owa NUP.

NUP yakoze bulungi e Mukono era Bakaluba asongeddwaako okuwangula ekifo kino naddala oluvannyuma lw'okutabagana n'abaludde nga bamulwanyisa nga ku luno nabo bajjidde mu NUP.

LUWEERO BAZZE 5
Abavuganya kuliko Erasto Kibirango (NUP), Uthman Kamoga (NRM), Dithan Mayanja Kikabi (talina kibiina), Vincent Ssebayiga (talina kibiina) ne Daniel Sserubidde (talina kibiina). Baagala kudda mu kya Ronald Ndawula eyaggyiddwa mu lwokaano lwa Katikamu North olwa kkooti okumulangirira mu baavu lunkupe.

Ebifo byonna e Luweero byawanguddwa NUP. Museveni naye yawanguddwa Kyagulanyi mu kitundu kino gye yalwanira olutalo n'akibatiza Mecca.
Mu kalulu kano, NUP esuubirwa okuwa NRM akaseera akazibu.

E NAKASEKE ERIYO 3
Abavuganya kuliko William Musisi (NUP), Wasswa Ziritwawula(IND), Ignatius Koomu (NRM). Koomu amaze ebisanja bisatu ng'akulembera Nakaseke. Ziritwawula yavuganya Koomu mu kamyufu ka NRM, amaze ebisanja bisatu nga ssentebe w'eggombolola y'e Ngoma.

NRM erina enkizo mu kitundu kino ky'ezze ewangula okuggyako konsitityuwense ya Luttamaguzi.

E NAKASONGOLA
Abantu basatu be bavuganya okuli; Robert Musasizi (NUP), Samuel Kigula (NRM) ssentebe aliko, Patrick Kasenyera (FDC). James Wandira (IND) yalangiridde bw'avuddemu ku Mmande.

NUP EWERA KUSUUZA NRM BUIKWE
Jimmy Kanaabi, omusuubuzi w'eddagala ly'ebirime mu Lugazi awera kuggyawo Mathias Kigongo owa NRM abadde ssentebe wa disitulikiti eno okuva lwe yakutulwa ku Mukono. Olwokaano era lulimu Maj. David Kibirango Mugambe ne Anthony Mukasa eyaliko omubaka wa Buikwe South.

Luzige Wa Nrm E Mityana

MITYANA
Patrick Mugisha (NUP) ne Abdul Muyimbwa atalina kibiina, baagala kusuuza looya Joseph Luzige (NRM) ekifo kino.

Mugisha yeesize omuyaga gwa NUP wadde nga Luzige yeesize ebintu by'akoze gattako okulabira ku wa NRM Mohammad Kibedi Nsegumire eyawangudde ekya Mityana North. Yamezze Gordon Ssematiko owa NUP. Kyokka Luzige tayinza butatya muyaga gwa NUP ogwatutte abanene okuli Minisita Judith Nabakooba.

KASSANDA
Abavuganya ye Ziad Kalema (NRM) ne Kasirye Zimula owa DP kyokka awagirwa aba NUP. Olwokaano lulimu ne Godfrey Lubega ne Khalid Lubega abatalina bibiina. Mu kalulu k'ababaka NRM yawanguddeyo omu ate NUP basatu.

MUBENDE
Michael Ntambi Ruzindana (NRM) attunka ne Pafla Kyeyune owa NUP. Abadde ssentebe Kibuuka Amooti yavuganyizza ku bubaka bwa palamenti n'awangulwa. NRM ezze ewangula Mubende era esuubirwa okusinga NUP.

MPIGI
Ssentebe aliko Perter Clever Mutuluza (NRM )abbinkana n'abadde kkansala wa Ggombolola y'e Kiringente Godfrey Kasasa Ssematimba atalina kibiina. DP ereese Fred Male ate Vicky Kawooya talina kibiina gattako owa NUP Martin Ssejjemba.

Mutuluza alina erinnya mu bantu kyokka asattira olw'amaanyi ga NUP mu kalulu akakaggwa. NUP yawangudde ekifo ky'omubaka omukazi e Mpigi Teddy Nambooze n'ekya Mawokota North eyawanguddwa Dr. Hilderman Kiyaga eyamezze Amelia Kyambadde. Mawokota South yawanguddwa Yusuf Nsibambi (FDC).

Wadde Ssejjemba muvubuka muto, abamunoonyeza akalulu bakulembeza kya kuwa bavubuka bukulembeze.

JINJA - BUSOGA
Ekifo kya ssentebe wa disitulikiti kyatwalibwa Moses Batwala (NRM) nga tavuganyiziddwa. Kati enkalu ziri mu Jinja City. NRM ereese Robert Kanusu ate NUP erina Alton Kasolo. Abalala ye Ivan Tibenkana (DP), Jeff Bidandi ne Julius Ziwa abatalina kibiina.

GOMBA ABA NRM BEEGASSE
Semu Kyabangi abadde avuganya ku bwannamunigina oluvannyuma lw'okuwanguilwa ssentebe aliko Geofrey Kiviiri mu kamyufu ka NRM amaze n'amwegattako nga batidde okuwangulwa munna kibiina kya NUP Erifazi Mubiru.

Oluvannyuma lwa NUP okuwangula eky'omubaka wa Gomba East, aba NRM baafunye okutya nti oba oli awo ne Erifazi Mubiri avuganya ku kaadi ya NUP yandibawangula nebasalawo okwegatta baleke kufiirwa kifo kino.

Ku mukolo ogubadde ku ofiisi ya RDC wa Gomba ogwetabiddwaako omusumba wa Central Buganda Micheal Lubowa , Semu Kyabangi agamba nti atidde okwawula mu bululu bwa NRM n'asalawo okuva mu lwokaano awagire munne Kiviiri basobole okugoba NUP e Gomba gye babadde baagala okusimba amakanda.

E BUTAMBALA MINZAANI YEEWUNZIKIDDE KU WA NUP
Mu disitulikiti ye Butambala owa NUP Rashidah Namboowa asinzaako amaanyi ku banne baavuganya nabo okuli n'eyali omubaka omukyala owa disitulikiti eno Mariam Nalubega eyawangulwa mu kamyufu ka NRM.

Okuwangula kw'ababaka ba NUP ababiri okuli Muhamad Kivumbi ne Aisha Kabanda kyayongedde abawagizi b'ekibiina kya NUP amaanyi era mu kiseera kino Namboowa y'ali ku mimwa gy'abalonzi mpozzi ne Mariam Nalubega abamu gwe bawagira olw'okumukubagiza kubanga yawangulwa bubi nnyo mu kisanja kya 2016.

Avuganya ku bwassentebe bwa Butambala Muhammad Lwoga abalonzi tebamuliiko nnyo era abamu ku ba NRM bejjusa nga baakamulonda mu kamyufu obutawagira Mariam Nalubega nga bagamba nti mukulu mu myaka n'okukola emirimu akasoobo.

BATAANO BAAGALA KY'E MBALE
John Kennedy Wasike, Muhammad Mafabi ne Joram Mayatsa abatalina bibiina ne Alfred Namasa FDC ne Garsta Watenyere NRM baagala kifo kya ssentebe wa disitulikiti. Kassim Namugali FDC, Magombe Vincent NRM, Abbas Wetaka NUP, Abdul Magoola talina kibiina ne Hashim Mwenyi talina kibiina baagala bwa Mmeeya.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...