
Babirye
ABAKAZI abasuulawo abaana olw'okuba abasajja babakyaye kikyamu. Olina okutuula n'okuza ezzadde lyo okusinga okubalekera ensi.
Nze Babirye 40, mbeera Magoma mu Disitulikiti y'e Nakaseke. Mu 1994 nafuna omusajja ne twagalana era nga buli kimu kitambula bulungi.
Mu kwagalana kuno twazaaliramu abaana 10 naye ebyembi ababiri ne bafa ne tusigaza abaana munaana. Twali tukwatagana bulungi mu buli nsonga era n'andaga obuvunaanyizibwa nga sisuubirayo kunkyawa.
Yatandika mpola okukyuka nga bw'omugambako oluusi takuddamu ate nga lw'akuzezemu akuvuma naye ne nsalawo okugumira embeera.
Naye lwakya lumu n'agenda okukola era teyakomawo. Twasooka kutya nga tulowoozza yafunye obuzibu kuba twakubanga ku ssimu ye nga takwata.
Oluvannyuma twakizuula nti gyali mulamu ng'abamu baatuuka n'okungamba nti, yafunayo omukazi omulala. Nagezaako okumukubira essimu atuwe obuyambi nga takwata nga ne bwe nkyusa ennamba endala n'akwata n'awulira nga ye nze ng'agiggyako.
Okuddamu okumulabako yazze mwaka guwedde ng'azze kutunda kibanja kwe tulimira kati tetukyalina kintu kyonna.
Nsaba bwemba nnamusobya, teyanditwaliddemu baana kuba musaayi gwe. Mu kiseera kino nfungizza makazi okulaba nga nfunira abaana bange eky'okulya naye ssente ezibaweerera sirina kyokka nga njagala basome.
Nsaba abazirakisa okunnyamba nsobole okusomesa n'okulabirira abaana bange. Ndi ku ssimu 0789985247 .