
Dr. Namulwana
OBWAKABAKA bukungubagidde omugenzi Dr. Florence Namulwana Nsubuga Bwanika eyafudde ku Ssande obulwadde bwa ssenyiga wa corona.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa yategeezezza nti, omugenzi yafiiridde mu ddwaaliro lya Platinum mu Kampala ku ssaawa 7:00 ez'emisana ku Ssande. "Dr. Nsubuga Bwanika mukyala wa Ssaabawolereza wa Buganda, Christopher Bwanika.
Enteekateeka z'okuziika zigenda mu maaso.