
Abantu abatandise okudda mu kibuga.
EMIRIMU gy'obusuubuzi mu Kampala gyongedde okudda mu nteeko oluvannyuma lw'okulonda okwabaddewo ku Lwokuna lwa wiiki ewedde.
Bannakampala abaali beetegudde ekibuga olw'embeera y'ebyokulonda baatandise okudda mu bungi ku Mmande.
Mangi ku maduuka gabadde maggale okuva ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde ng'abasuubuzi omuli n'ab'emmere babadde batono.
Abamu baagenda mu byalo okusobola okulonda ate abalala nga baali beetegudde mbeera.
Kino kyaleese n'akalippagano k'ebidduka ku nguudo eziyingira n'okufuluma ekibuga okweyongera ku Mmande ku buli luguudo.