
Oluguudo lw’e Kamwokya okumpi n’ekitebe kya NUP lwasuuliddwaamu emisanvu.
POLIISI esazeeko n'okweddiza ekitebe kya NUP e Kamwokya. Abaserikale tebakkiriza muntu yenna kuyingira wadde okuyita okumpi ne ofiisi. Geeti ennene esimbiddwaako kabangali ya poliisi okukakasa nga teggulwa. Munda mu geeti mussiddwaamu abaserikale.
Embeera y'emu y'eri n'ewa Robert Kyagulanyi e Magere ku lw'e Gayaza. Emisanvu gyassiddwa mu kkubo erikyama ewa Kyagulanyi. Tebakkirizaayo bantu. Balooya be abaagenze okumulaba eggulo nabo baagaaniddwa.
Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga yagambye nti poliisi yasazeewo okwongera okunyweza ebyokwerinda mu bitundu by'e Kasangati n'e Magere (Kyagulanyi gy'abeera) okulondoola ebigenda mu maaso mu maka ga Kyagulanyi.
Yagambye nti abagenda ewa Kyagulanyi bateekwa kusooka kufuna lukusa. Atalina lukusa tajja kukkirizibwa.
Kyokka yawakanyizza ebyayogeddwa Kyagulanyi nti bamusibidde awaka n'agamba nti si musibe era balondoola byonna ebigenda mu maaso ewa Kyagulanyi era biraga nti Kyagulanyi akola emirimu gye.
Ate omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti abaserikale bajja kwongera okubeera ku kitebe kya NUP kubanga baafunye amawulire nti abakulembeze ba NUP bateekateeka okutabangula ekibuga Kampala n'eggwanga lyonna. Enkiiko zibadde zituula ku kitebe kya NUP.
Kyokka omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi yayanukudde nti obwo bulimba. Ekyennyamiza Onyango ayogera atyo kubanga tamanyi bigenda mu maaso mu ggwanga.
N'agamba nti ekiseera kino ekikulu kulwana kye yayise okununula obuwanguzi bwa
Kyagulanyi ne Bannayuganda abaamuwadde akalulu kyokka obuwanguzi ne bubaggyibwako ne buweebwa Museveni eyalangiriddwa ku buwanguzi ng'ate (Museveni) yawanguddwa.
James Kabugo akulira ebyokwerinda mu NUP yategeezezza nti abaserikale baasazeeko ofiisi zaabwe mu kiro ekyakeesezza eggulo era ne bagobawo buli muntu.
BANNAMATEEKA BAGAANIDDWA OKULABA KYAGULANYI
Balooya ba Kyagulanyi okuli Benjamin Katana, George Musisi ne Anthony Wameeri eggulo baabade bagenze okumusisinkana e Magere kyokka ne bagaanibwa abaserikale nga babuzaayo mmita nga 500 okutuuka ewa Kyagulanyi.
Looya Musisi yategeezezza nti Kyagulanyi yabayise okubeebuuzaako bamuwabule ku kuwakanya mu kkooti ebyavudde mu kulonda. Kyagulanyi alumiriza nti obululu bwe bwabbiddwa.
Ate Katana yavumiridde okukuumira Kyagulanyi awaka n'agaanibwa n'okusisinkana abantu be okuli balooya. N'agamba bagenda kwekubira enduulu mu kkooti okuggya Kyagulanyi mu buwambe.
N'agamba nti Museveni oba akakasa yawangudde akalulu, alagire abaserikale bave ewa
Kyagulanyi olwo aba NUP baanike obuvuyo obwakoleddwa okusobozesa Museveni okuwangula.
Wameeri yagambye nti amateeka gawa Kyagulanyi ennaku 20 oluvannyuma lw'okulangirira ebivudde mu kulonda okutwala mu kkooti okwemulugunya. N'agamba nti kirabika Museveni ayagala ennaku ziggweeko nga Kyagulanyi tafunye budde kwemulugunya.
N'agattako nti bajja kuwaayo mu kkooti okwemulugunya wadde Kyagulanyi anaaba akyali mu kye yayise obuwambe. Obujulizi obulala bulitwalibwayo oluvannyuma.