TOP
  • Home
  • News
  • Ekibalo kya bizinensi y'amagi amafumbe

Ekibalo kya bizinensi y'amagi amafumbe

Added 19th January 2021

Amagi amafumbe gakola ssente.

Amagi amafumbe gakola ssente.

ABANTU abalaba abaana abatambuza amagi amafumbe mu bbaketi ku nguudo tebamayi ssente omugagga abatuma z'afuna.

Gano amagi, omugagga agafunirako ddala ssente eziwera. Omugagga ono ssente ze yandibadde akozesa mu kupangisa edduuka kw'atoola n'asasula omukozi agatambuza mu ngeri emusanyusa n'asobola okukola ng'ayagala.

Ate bizinensi eno teyeetaaga ssente nnyingi wabula yeetaaga kufuna omuwendo gw'abagalya omunene n'osobola okutunda agawera.

EBYETAAGISA
 Amagi ttule z'osobodde agakola ng'entandikwa.
 Abakozi abatambuza amagi. Gy'okoma okubeera n'abakozi abangi abagatunda,
gy'okoma okugafunamu.
 Bbaketi etangaala mw'agatambuliza nga bagalaba mangu. Ogigula okusinziira ku
sayizi. Eri wakati wa 4,000/- ne 5,000/-.
 Amanda oba enku, 2,000/-
 Kaamulali okusikiriza abagalya wa 500/-
 Omunnyo ppakiti 500/-.

EKIBALO KY'AMAGI GANO
* Buli ttule ogigula ku mulunzi wakati wa 9,500/- ne 10,000/-.
* Okyayinza okutandikira ku ttule 50 oba entonotono okusinziira ku bakozi b'olina
ng'osaasaanya wakati wa 475,000/- ne 500,000/- okusinziira ku katale.
* Ttule ebeeramu amagi 30.
* Buli ggi effumbe olitunda 500/-.
* Kino kitegeeza buli ttule ogifunako amagoba wakati wa 5,000/- ne 5,500/-.
* Katugambe omukozi atunze ttule bbiri olunaku, kitegeeza akuleetera amagoba wakati wa 10,000/- ne 11,000/-.
* Kati bw'oba olina abakozi abawera 10 abagatambuza nga buli omu asobola okutunda
ttule bbiri kitegeeza ofuna amagoba wakati wa 100,000/- ne 150,000/- olunaku.
* Kitegeeza nti ssente ezitemera mu mitwalo 20 zikuleetedde amagoba agakunukkiriza
mu mitwalo 10 mu lunaku lumu!
* Omukozi omusasula ku buli ttule gy'atunze ng'omuwaako wakati wa 1,000/- ne 1,500/-.
Amagoba agasigalawo g'otetenkanya n'ozza mu bizinensi ate n'oterekako.

Biwandiikiddwa Sarah Zawedde okuva ku Gladys Nakato omutunzi w'amagi.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...