TOP
  • Home
  • News
  • Aba Yellow Power baagala Kasule Lumumba alekulire

Aba Yellow Power baagala Kasule Lumumba alekulire

Added 19th January 2021

Abavubuka ba Yellow Power.

Abavubuka ba Yellow Power.

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power mu NRM, nga bano bakola gwa kukunga bantu, baagala Ssaabawandiisi  w'ekibiina kino,  Kasule Lumumba alekulire kubanga bakimuteekako nti ye yavuddeko aba NRM abangi  okusuulibwa mu bitundu bya Buganda ne Pulezidenti Museveni okuwangulwa mu bitundu bino.

Bano nga bakulembeddwa ssentebe waabwe mu ggwanga, Gerald Kasagga bagambye nti, bafunye okusoomoozebwa kungi mu kukunga abantu okuwagira Pulezidenti Museveni ne NRM, olw'enkola za Kasule Lumumba embi omuli n'okubamma ebikozesebwa ng'ebifaananyi bya pulezidenti okubitimba ssaako obutabaako engeri yonna gy'abayambamu okutambuza emirimu gy'ekibiina.

Kasagga agamba nti, babaddenga bakozesa ssente zaabwe okutuukiriza emirimu gy'ekibiina naye nga bwe batuukirira Kasule Lumumba webaba basikattidde ng'abagoba bugobi nti era ensonga eno bamaze ebbanga nga bagyemulugunyaako naye ne batayambibwa.

Kasagga ayongerako nti, "kino kye kivuddeko ekibiina kyaffe okukola obubi wadde nga pulezidenti yawangudde, kubanga omuntu wa wansi tafiiriddwaako ate nga ye tasobola kutuuka wansi ku bantu ba bulijjo, buli kye tumugamba akikasuka mu kasero. Abantu wansi banyiivu kubanga bingi ebisuubizibwa ne bitatuukirira" bwe baagambye. 

"Tusaba pulezidenti, mu kisanja kino agogole ekibiina kya NRM ng'atandikira ku bakulembeze ba waggulu abamaamidde mu bifo nga tebakola kimala okuggyako okulwanyisa abalala,  kuba bakoze kinene okukisuula nga ne mu kalulu babadde baliko. abooludda oluvuganya gavumenti be bawagira ate nga naffe nga NRM  tulinawo abantu betusimbyewo.

Pauson Twinoimugisha, omukwanaganya w'emirimu mu kisinde kya Yellow power agambye nti; ‘'Tulina obulumi, olw'abantu abatono abaagala okusuula ekibiina kya NRM  olw'enkola zaabwe embi, tuli beetegefu okulwanirira NRM okulaba ng'etereera. 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ali Kalungi eyali RDC we Otuke, Rev. Peter Bakaluba Mukasa ssentebe wa LCV omulonde ne RDC Fatumah Ndisaba Nabitaka mu lutuula lwa  kanso y'e Mukono.

Mukono bayisizza ekiteeso N...

Abakiise ku lukiiko lwa disitulikiti y'e Mukono bakanyiiza ne bayisa ekiteeso eky'e Ssaza ly'e Nakifuma okwekutula...

Abaana nga basena amazzi amacaafu.

Ab'e Rakai amazzi ge banywa...

Abatuuze mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Ddwaaniro ne Kagamba mu Ssaza ly’e Buyamba mu disitulikiti y’e...

Omusajja ng'alaga ebintu ebyasangiddwayo.

Ab'e Nateete beemulugunya k...

Abatuuze b’e Nateete baddukidde ku poliisi ne bagisaba ekwatagane n’ekitongole kya KCCA okulaba nga bamenyawo ebiyumba...

Abasiraamu nga banyumyamu.

Bayimamu twemweyingiza mu b...

DISITULIKITI Khadi w’e Lwengo, Sheikh Ismail Ibrahim Kibuule asisinkanye Abasiraamu okuva mu mizigiti egy’enjawulo...

Pasita Caleb Tukaikiriza ng'ayogera mu lukiiko. Ku ddyo ye Bbaale.

Abawala 300 mu Kalungu bazz...

OMUBAKA wa Gavumenti, Pastor Caleb Tukaikiriza agugumbudde abazadde abatatuukirizza buvunaanyizibwa bw’okukuuma...