
Ssebunnya
OMUWABUZI wa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda, Robert Ssebunnya avuddeyo n'ayogera ku mbeera y'ebyokulonda eyabaddewo ku kalulu k'Obwapulezidenti n'ababaka ba palamenti mu Buganda, n'agamba nti ekyabawanguzza bye bibuuzo ebiri mu Buganda, NRM by'etannayanukula.
Ssebunnya, eyabadde ku kitebe ky'amawulire ekya ‘Media Centre' mu Kampala eggulo, yagambye nti ensonga ezaavuddeko NRM okukola obubi mu Buganda weeziri, era zisaana zikolweko bunnambiro.
Yannyonnyodde nti ng'omuwabuzi wa Pulezidenti ali ku ddaala ly'obwasiniya abadde yeetegereza ensonga okuva mu 2010 lwe yalondebwa, n'agamba nti ebyabaviiriddeko okuwangula kuliko:
1.Ensonga ya Kyagulanyi (Bobi Wine), muyimbi era abadde ayimbira abantu ennyimba ez'amakulu, muvubuka ate omugezi, nga n'ekisinga byonna abantu bamwagala.
2. Abavubuka bangi mu Buganda baasazeewo okuwagira munnaabwe bakyuse ku mukulembeze nga bwe kyali e Madagascar ne weesanga nga Kyagulanyi ky'ekyokuddamu gye bali.
3. Bangi ku bavubuka tebalina mirimu ng'ate basomye. Mu kiseera kino amazima gali nti okufunira abavubuka emirimu kubadde kukyali kusoomoozebwa kunene.
4.Ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano Gavumenti eya wakati ekozeeko ku zimu naye wakyabulayo ebintu bingi, nga nakyo kyandiba nga kye kimu ku byavuddeko akabasa.
"Naye ekirungi Pulezidenti Museveni yawangudde, kale nno mu kisanja kino nze kye nsuubira nti ky'anaasembyayo, walina okubaawo okutuula, Gavumenti etunule mu nsonga eziruma abantu b'omu Buganda ate zikolebweko ziggwe," bwe yawabudde.
"Abagamba nti Buganda okulonda Kyagulanyi kaabadde kabonero ka busosoze mu mawanga bakyamu, ggwe ate lwaki Abanyankole baalonze Museveni? Nze ndowooza nti eyo si y'ensonga wabula ensonga ziri zikole-bweko," bwe yagambye.