TOP
  • Home
  • News
  • 'Gavumenti yabadde ntuufu okuggyako yintaneenti'

'Gavumenti yabadde ntuufu okuggyako yintaneenti'

Added 20th January 2021

Katebalirwe

Katebalirwe

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kayise ba agenti b'abeesimbyewo abaakwatiddwa oba okutaataaganyizibwa ku lunaku lw'okulonda, okuvaayo babawe obujulizi bakinoonyerezeeko.

Wabula akakiiko kategeezezza nti ttiimu yaako eyabadde erondoola akalulu teyafunyeeyo bujulizi bulaga nti waliwo agenti w'eyeesimbyewo eyakwatiddwa oba okulemesebwa okukola omulimu gwe ku lunaku lw'okulonda, ne kawunzika nti okulonda kwatambudde mu mirembe, n'akalulu kaabadde ka mazima na bwenkanya.

Bino byayogeddwa akola nga ssentebe w'akakiiko kano, Dr. Amooti Katebalirwe wa Irumba, mu lukungaana lwa bannamawulire olwabadde ku ofiisi z'akakiiko kano ku Twed Plaza mu Kampala.

Akakiiko era kaawagidde eky'okuggyako yintaneenti ne kagamba nti Gavumenti yakikoledde mu mateeka nga yeesigama ku nnyingo 43 eya ssemateeka, egiwa obuyinza okuggyako abantu eddembe lyabwe ery'obwebange singa ebeera ekikolera mu mbeera ey'okutaasa abantu.

Yayongeddeko nti naye ng'omuntu yeewulirirako ng'abantu abamu batiisatiisa okufuula Uganda Libya oba Somalia, ekintu Gavumenti kye yabadde teyinza kukkiriza.

Akakiiko era kawagidde n'amagye agaayiiriddwa mu bitundu ebitali bimu mu ggwanga, ne kagamba nti kyayambye abantu okulonda nga tewali kibatiisa.

Wabula Katebalirwe yategeezezza nti singa wabaawo agenti gwe baakutte ng'okulonda kugenda mu maaso, aveeyo abawe obujulizi babunoonyerezeeko era singa kizuulwa nga kituufu, babiteeke mu lipoota yaabwe enzijuvu.

Akakiiko era kawadde amagezi abataamatidde na byavudde mu kulonda, okugenda mu kkooti beekubire enduulu okusinga okukunga abantu okwekalakaasa, n'agamba ntiu baakukyalira ku Robert Kyagulanyi Ssentamu, n'abeebyokwerinda, bamanye ekituufu ekigenda mu maaso.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...