TOP
  • Home
  • News
  • Entalo mu NRM zisittuse buto nga zisimbuse ku byavudde mu kalulu

Entalo mu NRM zisittuse buto nga zisimbuse ku byavudde mu kalulu

Added 20th January 2021

Kadaga

Kadaga

ENTALO mu kibiina kya NRM zisittuse buto nga zisimbuka ku byavudde mu kalulu k'ababaka ba Palamenti.

Abamu ku baawanguddwa balumiriza bannakibiina bannaabwe okubasekeeterera mu balonzi ekyavuddeko okuwangulwa ennyo naddala mu Buganda ne Busoga.

Kibedi Nsegumire owa Mityana North y'omu ku basitudde olutalo mu NRM. Olutalo alusitudde ku Minisita Godfrey Kiwanda Ssuubi gw'agamba nti y'omu ku baavuddeko NRM okufiirwa ebifo kumpi byonna mu disitulikiti y'e Mityana.

Kibedi yagambye nti okuva lwe yaweebwa kkaadi ya NRM okuvuganya ku kifo ekyalimu Kiwanda, talina buwagizi bwonna bwe yafuna kuva wa Kiwanda era n'abaali bakakuyege ba Kiwanda nti bangi ne basala eddiiro ne batandika okukolera enkambi ya Dr. Gordon Ssematiko owa NUP.

Kibedi yalangiriddwa ku buwanguzi ng'asinze Ssematiko obululu 400 bwokka, wabula Ssematiko n'awakanya ebyalangiriddwa era n'akiteeka ku Kibedi nti yakozesezza olukujjukujju okukyusa ebyavudde mu kulonda kwa Mityana North n'alangirirwa mu bukyamu era n'alaalika okumutwala mu kkooti.

Kibedi yategeezezza Bukedde nti akatuubagiro ke babaddemu mu kalulu k'e Mityana kavudde ku butakolera nti ne Minisita Judith Nabakooba naye abadde alwanyisibwa aba NRM ekyamuviiriddeko okuwangulwa.

Namuganza

Kyokka Ismail Byekwaso omwogezi wa NRM mu Mityana yalabudde Kibedi okukomya okusaasaanya gwe yayise kalebule ku Kiwanda kubanga talina bujulizi bwonna ku by'ayogera.

Yannyonnyodde nti Kiwanda abadde akumaakuma bannakibiina mu Mityana nti era n'abawagizi ba Kiwanda abaasalawo obutawagira Kibedi babadde bakikola ku lwabwe nga beesigama ku nsonga zaabwe ng'abantu era ekyo tayinza kukinenyeza Kiwanda.
Yagambye nti, Kibedi by'ayogera byongera kutema mu kibiina na kwonoona linnya lya Minisita gw'akonjera ebitaliiko mutwe na magulu, era n'amulabula n'obutayingiza Nabakooba mu nsonga ze.

Deogratius Lweza eyali kakuyege wa Kiwanda wabula n'asalawo okuwagira Ssematiko yagambye nti Kibedi alina obunafu bwe ng'omuntu era abalonzi abamu bamutunuulira ng'atalumirirwa kitundu wabula eyagendayo okufuna ekifo ky'omubaka wa Palamenti era y'ensonga lwaki bannakibiina kya NRM abamu baasalawo obutamwesiga ne batamuwagira.

Kiwanda

Kibedi yali yeesimbyewo mu kamyufu ka NRM ng'avuganya Kiwanda omwaka oguwedde ku kifo kya Mityana North. Kiwanda bwe yaggyayo empapula z'ekifo ky'omumyuka wa Ssentebe wa NRM atwala Buganda ate ne Kibedi naye ne yeesimba ku kifo kye kimu.

Oluvannyuma baabatuuza ne kisalwawo Kibedi ave mu lwokaano, wabula ne Kiwanda ne bamugamba aleme kwesimbawo mu Mityana North era kkaadi ya NRM n'eweebwa Kibedi nga tavuganyiziddwa.

Mu kitundu kye kimu, Nabakooba abadde takwatagana na ttiimu ya Ssentebe wa disitulikiti y'e Mityana Joseph Luzige era olutalo lwabwe lwatandikira ku mpooza n'omusolo gw'amayumba g'obupangisa disitulikiti gwe yali ereese wabula Nabakooba n'agulwanyisa.

BUDDU
Entalo ez'ekika ekyo zibadde ne mu bitundu ebirala omuli ne disitulikiti ezikola Essaza ly'e Buddu era zaayanguyirizza aba NUP okuwangula ebifo kumpi byonna mu Kalungu, Masaka, Bukomansimbi, Kyotera ne Lwengo.

Kigambibwa nti wabaddewo aba NRM abalwanyisa omumyuka wa Pulezidenti, Edward Ssekandi ng'abamu nti babala nti bw'aba awanguddwa mu Bukoto Central emikisa egimuzza ku bumyuka bwa Pulezidenti giba mitono, olwo nga beeraba ng'ababa batangaazizza emikisa gyabwe.

Vincent Ssempijja nti naye abadde n'abamu ku ba NRM abatamuwagira era baasalawo okusimba emabega wa Lule Mawiya abadde talina kibiina mw'ajjidde, ekyawadde Francis Katabaazi Katongole owa NUP omukisa ogubawangula bombi.

Kigambibwa nti mu kunoonya akalulu, Ssempijja abadde tatambulira wamu n'omubaka omukyala owa disitulikiti Aisha Ssekindi era mu disitulikiti Ssekindi yekka ye wa NRM eyawangudde.

Mu Kyotera nayo Minisita Haruna Kyeyune Kasolo abadde n'entalo nnyingi ne bannakibiina era abamu ne beegatta ku wa DP John Paul Mpalanyi Lukwago mu butongole era okukkakkana nga Kasolo awanguddwa.

Kasolo

Aba NRM abeegatta ku Mpalanyi baakulemberwa Ssentebe wa disitulikiti Patrick Kintu Kisekulo eyalumiriza Kasolo nti ayagala kwefuula wa kitalo mu Kyotera nga y'alagira buli ekirina okukolebwa n'abantu abalina okulondebwa.

Mu Lwengo nayo Abdul Kiyimba owa NRM yawanguddwa mu Bukoto South naye nga kigambibwa nti abamu ku baamulwanyisizza ennyo be baali abawagizi ba Haji Muyanja Mbabaali gwe yawangula mu kamyufu ka NRM omwaka oguwedde. Kiyimba amanyiddwa ennyo nga "Meeya" w'e Nsangi, yawanguddwa owa Dr. Twaha Kagabo owa NUP.

BUSOGA
Sipiika Rebecca Kadaga wakati mu kunoonya akalulu yayogera kaati nti waliwo abanene mu NRM abamulwanyisa aleme kuyitamu e Kamuli. Yagamba nti, be bateeka ensimbi mu Salaamu Musumba owa FDC abadde amuvuganya ennyo.

Abadde ku mbiranye ne Minisita Isaac Musumba (bba wa Salaamu Musumba) ng'akimussaako nti y'akulembera abawagira Salaamu okumusuuza ekifo ky'omubaka omukyala owa Kamuli.

Kigambibwa nti n'enkambi ya Kadaga mu kwesasuza yalwanyisizza nnyo Isaac Musumba okukkakkana ng'awanguddwa.

Kigambibwa nti entalo zino zaabaddemu ne Minisita Persis Namuganza aludde nga takwatagana ne Kadaga. Abaagala ekifo kya Sipiika wa Palamenti mu kuwangula Kadaga bandibadde bamaze okwerula ekkubo. Entalo ezo kigambibwa nti ze zaavuddeko ne Moses Balyeku owa NRM okuwangulwa mu Jinja West.

Kasule Lumumba

Olutalo olwasituse mu Buganda olw'okuwangula NRM obubi ennyo, lwazingiddemu ne Busoga nga nayo Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) owa NUP yawanguddeyo.
Abamu akazito bakatadde ku Kadaga nga bagamba nti yalemeddwa okukunga abantu okulonda Yoweri Museveni olwo Kyagulanyi n'atuuka n'okuwangula disitulikiti y'e Kamuli ate nga Kadaga ye yawangudde disitulikiti eyo ku kifo ky'omubaka omukazi.

Abalala bakinenyeza Ssaabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba
gwe bagamba nti engeri gy'ava mu Busoga teyakoze kimala kusaggulira NRM kalulu.

Eggulo abavubuka b'ekisinde kya Yellow Power mu NRM nga bakulemberwa Gerald Kasagga ne Paulson Twinamatsiko baalaze obutali bumativu nga baagala Lumumba alekulire nga bagamba nti teyakoze kimala mu kunyweza emirandira gy'ekibiina naddala mu Busoga ne Buganda.

Nsegumire Kibedi

Kasagga agamba nti, babadde bakozesa ssente zaabwe ng'abantu okutuukiriza emirimu gy'ekibiina naye nga bawulira nti ekitebe kya NRM ekiddukanyizibwa Lumumba kyaweebwa ensimbi okunoonyeza NRM akalulu mu ggwanga lyonna.

Kyokka gye buvuddeko, omwogezi wa NRM Rogers Mulindwa yannyonnyola nti abantu bangi baawubisibwa ku bya ssente za NRM ez'okunoonya akalulu nti era ensimbi ezaabaliribwa zaatuusibwa ku baalina okuzifuna

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'cokoleti'

Omufumbi wa Kkwiini ayoged...

KKWIINI Elizabeth II ayagala kkeeki erimu ekirungo kya ‘chocolate' wabula okusinziira ku biragiro by'abasawo waakiri...

Fr. Anthony Musaala (ku ddyo) ng’abuuza ku Kiwanda ne Ying. Joseph Ssewava oluvannyuma lwa Mmisa mu Lutikko e Lubaga.

▶️ Mutusonyiwe bye twayog...

AMYUKA ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi yeetondedde Eklezia olw'okusowagana okwaliwo mu kiseera...

Abamu ku batuuze nga bali mu maka g’omubaka Betty Nambooze (mu katono).

Ab'e Kigombya balabudde Gav...

ABATUUZE ku kyalo Kigombya mu disitulikiti y'e Mukono, bawadde gavumenti nsalessale ya myezi ena okutuuka mu mwezi...

Emmotoka ya Kyagulanyi (mu katono) empya.

Enkalu zeeyongedde ku mmoto...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine bijjulidde kkooti erina okuyisa ekiragiro ekiwaliriza nnannyini yo okugizzaayo mu kitongole...

Muzaata ne Bakazi be Kluthum ne Bugirita

Ekiraamo kya Muzaata kirees...

SHEIKH Umar Swidiq Ndawula asomye ekigambibwa okuba ekiraamo kya Sheikh Nuhu Muzaata ne kyongera okusajjula embeera...