TOP
  • Home
  • News
  • Bakuba ebifaananyi ne babyolezaawo ne bakola ssente

Bakuba ebifaananyi ne babyolezaawo ne bakola ssente

Added 20th January 2021

Ono ekifaananyi kye akifulumizaawo.

Ono ekifaananyi kye akifulumizaawo.

ENKOLA y'okukubisa ebifaananyi ne bimala wiiki ate olumu bigenda okudda nga tebyavaamu nga bwe byali bisuubirwa ewadde abamanyi eky'okukola emirimu.

Ate okutuuka wano ebifaananyi bivudde wala kubanga ebyasooka baabyolezanga Nairobi mu Kenya eyo nga biyinza okukulungulayo omwezi, nga bikubirwa ku ‘film' era nga toyinza kumanya kino kikutte oba tekikutte era (film) ng'erina ekkomo ly'ebifaananyi by'erina okufulumya. Ate bwe gwatuuka ku bya langi ekintu ne kibeera kya ssaayansi mungi bulala.

Kyokka ensangi zino ebifaananayi bifuuse byangu nnyo ng'omuntu akuba ebifaananayi by'omukolo ebirungi n'abikuleetera mu kiseea kya wiiki ng'emu yokka, kyokka nga waliwo n'enkola eya ‘express' esobola okubikuwa mu ssaawa busaawa.
Kati ekyawula ku bifaananyi maanyi ga kkamera ekozesebwa, obukugu n'obuyiiya bw'omukubi.

Bangi ku bali mu mulimu gw'okukuba ebifaananyi eby'ensimbi nga bya kwoza bagwongeddemu ebirungo okusobola okusikiriza ba kasitoma n'okukola ssente ez'amangu.

BAKIKOLA BATYA?
Bagula obuuma obwolezaawo ebifaananyi mu buli kifo mwe bali ate nga busobola okweyambisa bbaatule za mmotoka singa tewaba masannyalaze ne bakuweerawo ekifaananyi kyo ng baakakikuba.

EBYETAAGISA
1. Kkamera: Eno nga nnungi eva ku 500,000/- okutuuka ku 1,200,000/- oluusi n'okusingawo era waliyo n'ezigula obukadde obusoba mu 10, ng'osobola n'okugyeyambisa ne ku mikolo emirala omuli n'embaga oba obubaga, era ng'esobola n'okukwata vidiyo.

2. Akuuma akooza ebifaananyi kava ku 600,000/- okudda waggulu okusinziira ku kika n'amaanyi gaako.

3. Empapula okugenda ebifaananyi za ssente 13,000/- paketi ya mpapula 80
4. Okugula entebe n'okuzitona kiyinza okukumalako ssente 300,000/-
5. Bbaatule ya mmotoka nga mpya ofuna eya ssente 200,000/-

ENGERI GY'OKOLAMU SSENTE
Buli kifaananyi sayizi etandikirwako ya 1,000/-
Paketi y'empapula 80 evaamu 80,000/- bw'oggyako ssente 13,000/- ezaagiguze osigaza 67,000/-.

Wabula oyinza okufuna bakasitoma abaagala ebinene ebyetaaga okutwala mu situdiyo ezibyoza n'okubiteeka mu ffuleemu nabo abakolako n'ogaziya ku nnyingiza.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...