TOP
  • Home
  • News
  • Ntagali yaani n'ebibonerezo ekkanisa by'ewa bannaddiini abasobezza

Ntagali yaani n'ebibonerezo ekkanisa by'ewa bannaddiini abasobezza

Added 20th January 2021

Ntagali ku mukolo ogumu.

Ntagali ku mukolo ogumu.

NTAGALI Y'ANI

1. Yazaalibwa March 1, 1955
2. Yaweereza mu Bunyoro Kitara okuva 2002 oluvannyuma n'alondebwa ng'omuwandiisi w'Ekkanisa ya Uganda, Omulabirizi wa Masindi- Kitara 2004 - 2012.
3. June 22, 2012 yalondebwa okubeera Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda ng'adda mu bigere bya Henry Luke Orombi.
4. Yatuuzibwa nga Ssaabalabirizi nga December 16, 2012 ku Lutikko e Namirembe.
5.Yalokoka ku Ssekukkulu ya 1974, n'akkiriza Yesu.
6. Yawummudde nga March 1, 2020 ng'awezezza emyaka 65 egy'essalira.
7. Yasomesaako mu Wambabya P/S, e Karamoja, Bishop Tucker Theological College, St. Paul's Theological College, Limuru, Kenya, ne Oxford Centre for Mission Studies e Bungereza UK.
8. Mukyala we ye Beatrice Ntagali Abwori, balina abaana bataano.

Ebibonerezo Ekkanisa by'ewa bannaddiini

Ebibonerezo Ekkanisa by'ewa kuliko; okussibwa eddaala kyokka Ntagali takyassibwa ddaala kubanga yawummula. Ekirala okuggyibwamu obwesigwa, okuyimirizibwa ku buweereza bw'aliko oba okugobwa mu buweereza bw'Ekkanisa.

Omusango bwe gumala okuwulirwa ne bagaba ekibonerezo, ssentebe w'akiiko oba kkooti awandiikira Ssaabalabirizi n'amutegeeza ebituukiddwaako olwo Ssaabalabirizi n'akyanjula mu lukiiko lw'Abalabirizi mu bbanga eritasussa nnaku 14.

Etteeka liragira Ssaabalabirizi okutegeeza Ekkanisa ya Uganda (Abakristaayo) ebibeera bisaliddwaawo. Wano Ssaabalabirizi we yasinzidde okuwandiika ebbaluwa eyasasaanye n'ebweru. Era abeebweru okuli; Bungereza ne Amerika bakuba gudiikudde kubanga Ntagali y'omu ku Balaabirizi okuva mu Afrika abaawakanya okukkiriza ebisiyaga.

Abeebweru nga bagamba Abafrika bawagire ebisiyaga olwo nabo bawagire Abafrika okutongoza okuwasa abakazi abasukka ku omu.

Ntagali kino yakigaana nti kikafuuwe okuva ku njigirioza ya Karisto eragira okuwasa omukazi omu. Ntagali yawandiika ekitabo ekiwakanya abakazi abangi ekya "More than one Wife: Polygamy and Grace".

Alaga obubi obuli mu kuwasa abakazi abasukka ku omu n'ajuliza ebyawandiikibwa mu Bayibuli nti, Ekkanisa ya Uganda ne Afrika teyinza kubivaako kukkiriza bisiyaga mu Bazungu oba abakazi abangi mu Baddugavu.

Mu bbaluwa ye, Dr. Kazimba naye yajulizza Bayibuli, Abaruumi 3:23 nga Paulo aluhhamya ku bakulembeze n'abaweereza bwe bateekwa okweyisa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...