TOP
  • Home
  • News
  • Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

Added 20th January 2021

Nabilah ne Lukwago

Nabilah ne Lukwago

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago anaasimattuka omuyaga gwa manvuuli ya NUP?

Lukwago ali ku ttikiti ya FDC era attunka ne Nabirah Naggayi Ssempala owa NUP nga basisikana Daniel Kazibwe (Ragga Dee) owa NRM kw'ossa Joseph Mayanja (Jose Chameleone) n'abalala musanvu abali mu lwokaano.

Lukwago enkizo gy'alina ya kubeera ng'ekifo kya Loodi Meeya akibaddemu okuva lwe kyatandika mu 2011 era kino asaba kisanja kyakusatu newankubandde nga ne Naggayi abadde mubaka omukazi owa Kampala okuva 2006 era ekitundu Lukwago mw'abadde anoonya akalulu nga ky'ekitundu kyennyini ne Naggayi mw'azze yeesimbawo.

Bangi abavuganya n'abaavuganyako mu kalulu ku bifo eby'enjawulo mu Kampala balaga we bayimiridde ku mbeera y'omuyaga gwa manvuuli n'akalulu ka Kampala.

Hajji Nasser Takuba eyaliko Mmeeya wa Kawempe yategeezezza nti Lukwago okusimattuka omuyaga guno alina okuba ng'akoze ekimala mu kulaga abalonzi nti alina enjawulo nnene ku bantu abamuvuganya, olwo ne bamulonda nga ye omuntu nga tebalowoozezza ku kibiina mw'ajjidde.

Yagambye nti ekintu ekirala ekiyinza okuyamba Lukwago kwe kuba ng'abaalonda manvuuli wiiki ewedde abamu baggwaamu ebbugumu ne bakomawo leero nga bakkakkamu ne basengejja abeesimbyewo omu kw'omu nga tebagendedde ku bubonero bwa bibiina kubanga mu kiseera kino "manvuuli" yabuutikidde "ekisumuluzo" ne "bbaasi" mu Kampala.

Beesimbyewo

Lukwago abadde aweereza obubaka obulaga nti akwatagana bulungi ne NUP n'omukulembeze waayo Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) nti era kino kyandiba nga kimuyambye, wabula ate n'abasaasaanya obubaka obulaga nti abawagizi ba Kyagulanyi balina kulonda bali ku "manvuuli" nabwo bukosezza obuwagizi bwa Lukwago nga ne bw'aba wa kuwangula, ayinza obutawangulira ku bululu bungi nga bwe yafuna mu 2011 ne 2016.

Israel Mayengo eyavuganyizza mu kalulu k'ababaka abakiikirira abakadde kyokka n'awangulwa yagambye nti Lukwago obutasanga buzibu alina okuba nga yakwataganye n'abamu ku bakulembeze ba NUP obutamulaba ng'omulabe wabula bamutunuulire ng'ali mu kisinde kimu eky'enkyukakyuka.

Mayengo yayongeddeko nti Lukwago azimbye erinnya ebbanga ddene ng'omuntu atakyukakyuka ekiyinza okumuyamba mu balonzi ate nga n'abamuvuganya balina ensonga ez'enjawulo abalonzi ze baboogerako, ekiyinza okuwa Lukwago enkizo.

Kyokka yagambye nti, ekyo Lukwago tasaanye kusuula nnanga kubanga omuyaga bwe gujja, abantu baba baagala nkyukakyuka era olumu balonda n'abantu be batamanyi.

Yawadde eky'okulabirako kya 1971, abantu baajaguza nga Milton Obote avudde ku bukulembeze Idi Amin n'abutwala wadde ssi gwe baali baagala ennyo.

Ssewava Sserubiri yagambye nti, wadde omuyaga weeguli, si buli wabadde okulonda nti, baalonze manvuuli n'agamba nti, ebifo ebimu abantu baalonze muntu okusinziira ku busobozi.

Yalambuludde nti: Mu Kampala Central, Fred Nyanzi yabadde ku manvuuli, wabula Mohammad Nsereko atalina kibiina n'ayitamu ate e Kira, waabaddeyo ali ku manvuuli Jimmy Lukwago naye baalonze Ibrahim Ssemujju Nganda owa FDC.

Waliwo n'abali mu NUP naye nga bawagira Lukwago mu kalulu kano naddala Betty
Nambooze ne Allan Ssewanyana.

Allan Ssewanyana omubaka wa Makindye West yagambye nti wadde wa NUP era ye tiketi kwe yagendedde mu palamenti, muwagizi wa Lukwago era ne bakama be mu kibiina kya NUP yabategeeza w'ayimiridde n'abawa n'ensonga ze.

Erasto Kibirango   Luweero

Omubaka wa Munisipaali y'e Mukono, Betty Nambooze olwamaze okuwangula ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde n'ategeeza nti agenda kuzingulula engugu ye agikube mu Kampala okutuusa ng'akalulu ka Lukwago kawedde okulangirira.

Kyokka abamu ku bali mu NUP abaagaanye okuwagira Lukwago bagamba nti baali bamusuubira okuyimirira ne Kyagulanyi mu kalulu wabula n'asalawo okugenda mu FDC era nabo bagenda kukola ekisoboka okuyisaawo omuntu waabwe.

Yagasseeko nti mu bibalo byabwe, olukiiko lwa KCCA lusuubirwa okubeeramu bakkansala ba NUP abangi olw'omuyaga gwa manvuuli era bakiraba ng'ekijja okwanguya emirimu gya kkanso nga balonze Loodi Meeya ali mu kibiina ekimu ne Bakansala.

Abaagala obwakkansala mu NUP nabo babadde batambuza njiri ya Naggayi ekiyinza okukosa obululu Lukwago bwe yandifunye.

Abeesimbyewo Mpigi Ne Mukono

EBITUNDU EBIRALA
Ebitundu ebirala bingi omuyaga gye gwayise nga balonda ababaka ba Palamenti. Guno gwalese Baminisita 11 abava mu bitundubya Buganda nga gubakubye ku ttaka.

Mityana waliyo Joseph Luzige ssentebe abaddeko era ali mu lwokaano ng'ono avuganya ne Patrick Mugisha owa NUP wamu ne Abdul Muyimbwa atalina kibiina. Okuva emabega Mityana ebadde ekulemberwa NRM kyokka akalulu akaawedde omubaka omukazi Judith Nabakooba abadde ku tikiti ya NRM baamuwangudde.

E Mukono okuvuganya okw'amaanyi kuli wakati wa Rev.Peter Bakaluba Mukasa owa NUP attunka ne Hajji Harunah Ssemakula owa NRM. Ekifo kino kibaddemu Andrew Ssennyonga Luzindana owa NRM kyokka mu kamyufu baamuwangula n'akomawo nga talina kibiina.

Masaka City abavuganya kuliko Florence Namayanja ono abadde mubaka wa Bukoto East ebisanja bibiri bwe baatonzeewo.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nanyonga (owookubiri ku, kkono) ne Mmeme nga bazannya KCCA.

Meeme ne Nanyonga: Omu yazi...

RUTH Meeme ne Racheal Nanyonga babasi ba mupiira. Bazanyiddeko ku ttiimu y’eggwanga (She Cranes), era bawangudde...

Lagu (ku ddyO), Spice Diana ne Rema Namakula.

Omusawo awabudde ku bagenda...

ABASAWO bawabudde ku baagala okutonera omuyimbi Evelyn Lagu ensigo basooke babakebere. Ku mukolo gw’okwoza emmotoka...

Rev Kisakye

Okusiiba si kwa nnaku 40 zokka

ABAKKIRIZA abeenyigira mu kusiiba okw’ennaku 40 babuuliriddwa okwongera okubeera n’okukkiriza mu Katonda nti yekka...

Fr. Kabanda.

Ekkubo ly'omusaalaba libeer...

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo...

Maj. Katamba.

Abaazirwanako 200 bagenze S...

EKIBINJA ky’amagye ekisooka e Kakiri kisunsudde abaazi rwanako 200 nga baakutwalibwa e Somalia okwongera okukuuma...