
Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa
Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona.
Omusumba Kaggwa abadde amaze ekiseera ng'atawaanyizibwa ekirwadde kya Covid-19 mu ddwaaliro ekkulu e Mulago mu Kampala.
Akulira ebyamawulire mu Ssaza Katolika e Masaka, Fr. Ronald Mayanja akakasiza okufa kwa Bp.Kaggwa n'ategeeza nti Eklezia ejja kuvaayo n'enteekateeka z'okuziika zirangirirwe mu bujjuvu.