
Omugenzi Bp.Kaggwa
OMUSUMBA w'essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde ekirwadde kya corona naye nga tannafa poliisi ya Uganda yasoose kumwetondera.
Fr. Ronald Mayanja omwogezi w'essaza ly'e Masaka yategeezezza Bukedde nti Omusumba Kaggwa yafiiridde mu ddwaaliro Ekkulu e Mulago Kampala eggulo akawungeezi.
Wabula Fr. Mayanja yagambye nti enteekateeka ezisingawo zaakufulumizibwa ekitebe kya Klezia e Nsambya okulambika okukungubaga n'okuziika.
Omusumba Kaggwa abadde amaze ekiseera ku kitanda e Mulago ng'apooca n'ekirwadde kya corona okutuusa lwe kyamusse.
Omwaka 2016, Omusumba Kaggwa baamutwala mu Amerika ne bamulongoosa amaaso n'atereera n'akomawo e Uganda n'aweereza okutuusa lwe yawummula mu 2019 ne kuddako Omusumba Serverus Jjumba.
Kaggwa yazaalibwa March 23, 1943 e Bulenga Wakiso mu Busiro afiiridde ku myaka 77. Yafuna Obwafaaza mu December 1971, yatuuzibwa ku Busumba bw'e Masaka mu June 1995 ng'adda mu bigere by'Omusumba Adrian Kivumbi Ddungu.
Omusumba Kaggwa ekiseera ky'abadde mu buweereza buno abadde teyeerya ntama ng'ayatulira bannabyabufuzi abakola ebinyigiriza abantu.
Omwaka gwa 2016 yawa abakulembeze ba munisipaali y'e Masaka wiiki emu nga bazibye ebinnya ebiri mu nguudo bwe batakikola yali waakukunga abantu beekalakaase mu mirembe.
October 2020, Omusumba Kaggwa yabadde akulembeddemu Mmisa ku kiggwa ky'Abembogo e Mugulu Ssingo poliisi n'ebakubamu ttiyaggaasi n'ebagumbulula. Omutaka Kasibante Kayiira Gajule yabadde yeebaza Katonda olwa Kabaka okumuwa obuvunaanyizibwa nga ssentebe w'olukiiko lw'abataka n'aweereza.
Poliisi n'amagye baasituse ne bagenda mu maka g'Omusumba Kaggwa e Kitovu Masaka ne bamwetondera era Asan Kasingye eyakulembedde banne yamukwasizza ekirabo kya masiki eriko akabonero ka poliisi.
Akoze emirimu mingi egikulaakulanya essaza ly'e Masaka; yatandika enkola ey'okugabira Abakristu ente era n'atandikawo MADDO Dairies Ltd. mu Nyendo yaddaabiriza Lutikko y'e Kitovu.