
Ntagali ne mukazi we maama Beatrice.
OMUKAZI ayasudde mu bizibu Dr. Stanley Ntagali yasooka kugonza maama muka Ssaabalabirizi Ntagali gwe yabuulira ebizibu by'ayitamu.
Omukazi Judith Tukamuhabwa yasooka kukola mukwano ku muka Ntagali gwe yabuulira ebizibu by'ayitamu kyokka ng'abakulira ekkanisa bagaanyi okumuyamba.
Maama Ntagaliyasaba bba ayambe omukazi ono era gye byaggweera nga Ntagali
akemeddwa.
Mu bizibu bye yayitira mu muka Ntagali kuliko okusika omuguwa mu bufumbo bwabwe ne bba, Rev. Christopher Tugumehabwe obwali buvuddeko n'okubagoba mu nju ku Bishop Barham University College, Kabale. Eno Rev. Tugumehabwe gye yali asomesa ebyeddiini. Abakulu ba yunivasite ne bannaddiini baali tebamuyambye.
Omukazi ono alumiriza Ntagali okumuganza ekyavuddeko Ssaabalabirizi, Stephen Kazimba okuyimiriza Ntagali obutakola mulimu gwonna mu kkanisa.
Omukazi ono yayita atya ku baawule, Omulabirizi w'e Kabale n'ebitongole by'ekkanisa nga Mother's Union n'atuuka ku Ssaabalabirizi?
Bukedde yategeezeddwa nti Judith azaalibwa mu kitundu kye kimu ne Beatrice Ntagali (mukyala wa Ntagali). Bombi bazaalibwa mu ggombolola y'e Bufundi mu disitulikiti y'e Rubanda eyasalibwa ku Kabale.
Abava mu kitundu ekyo basinga kuyitibwa "Omukongwe" era olumu beeyita "Abanyangyezi" kubanga baasomoka ennyanja Bunyonyi. Mu kitundu ekyo ate
ne Ntagali gy'asibuka era enkwatagana wakati wa Judith ne Beatrice yanywera mangu olwo Judith n'ayanguyirwa okutuuka ku Ntagali olw'akakwate ako.
Eri abamanyi Judith tekyabeewuunyisa okutuuka ku Ntagali kubanga okuva ng'akyali
muvubuka mu ssomero (yasomera Kigata High School, Kabale) yalina ekitone ky'okuwaguza n'atuuka ku banene.
Abadde alabibwa ku bubaga bw'abanene ng'omugenyi omuyite oba ng'apepeya n'abasajja ab'ebbeeyi okuli ebikonge bya Gavumenti.
"Maama Beatrice ye yasooka okwanjula Judith ewa Ssaabalabirizi, ng'amwogerako nga muwala we, olw'akakwate ke balina nga tamanyi nti omukazi agenda kuleeta ebizibu mu maka." Omu ku mikwano gya ffamire ya Ntagali bwe yategeezezza Bukedde.
Kigambibwa nti buli kizibu Judith kye yafunanga mu maka, ng'anoonya Maama
Beatrice okumuyitiramu era ng'awunzika amusaba amuyambe okutuuka ku Ntagali amusabireko.
Kigambibwa nti olumu Judith yagenda ewa Ntagali nga n'amaziga gamuyitamu ng'agamba nti bba Rev. Tugumehabwe yali amukubye nnyo era ng'ayagala
Ntagali mu kiti kye nga Ssaabalabirizi, ayogereko n'Omwawule ku by'okutulugunya
Judith entakera.
"Yasanga Ssaabalabirizi alina abagenyi bangi omwali ne bannaddiini, wabula Maama Beatrice yayisaawo mangu Judith okumutuusa ewa Ssaabalabirizi," Mukwano
gwa ffamire ya Ntagali bwe yannyonnyodde.
Enkwatagana eyo nti yatandika mu 2018 nga Ntagali akyali Ssaabalabirizi era emirundi egimu nti Judith yajjanga Kampala okumusisinkana amuyitiremu ebizibu bye.
Mu nsisinkano ezo, kigambibwa nti sitaani mwe yayitira okukkakkana ng'omukazi atengudde Ntagali.