TOP
  • Home
  • News
  • Engeri Judith gye yatengula Ssaabalabirizi Ntagali

Engeri Judith gye yatengula Ssaabalabirizi Ntagali

Added 21st January 2021

Lwe baasisinkana mu wooteeri

Judith olumu yapangisa ekisenge mu wooteeri emu e Mbarara ku mwaliiro gwe gumu ne Ntagali kwe yali agenda okusula.

Okumanya nga Judith waabulabe, kigambibwa nti yafuna omu ku bakozi mu wooteeri n'amukwata ku katambi ng'ava mu kisenge kye ayingira ewa Ssaabalabirizi.

Akatambi kaalaga Judith ng'ayingira wooteeri ate oluvannyuma ne Ntagali naye n'atuuka ku wooteeri yeemu. Oluvannyuma Judith n'akwatibwa ku katambi ng'ayingira mu kisenge omuli Ntagali.

Kigambibwa nti obujulizi obwo bwonna Judith yabukuηηaanya era mu kiseera we yafunira obutakkaanya ne Ntagali ng'amaze okuzaala omwana gw'agamba nti wa Ntagali, n'atandika okubukozesa okuteeka Ntagali ku nninga amuwe ssente, amugulire enju n'ebirala oba si ekyo amwanike.

Buno bumu ku bujulizi bwe yatwalira Ssaabalabirizi aliko Kazimba okulaga nga Ntagali bwe yamuganza.

Kigambibwa nti Kazimba yasooka kwogeramu ne Ntagali mu ngeri ey'ekisajjakikulu ku bigambo Judith bye yali amulumiriza, wabula nti Ntagali n'agamba nti alina abamulwanyisa bangi abaagala okwonoona erinnya lye era ng'ateebereza nti be bali emabega wa Judith.

Ssaabalabirizi Kazimba

Kyokka Judith yalemerako era Kazimba n'awalirizibwa okutwala ensonga mu kakiiko ka Provincial Tribunal akakola nga kkooti y'ekkanisa.

Judith bwe yayanja ensonga n'aggyayo n'obujulizi, nti Ntagali yakola kimu kya kwetonda n'ategeeza olukiiko nti sitaani yamukema n'agwa mu nsobi naye
yeenenya mu maaso ga Katonda, mu maaso ga mukyala we Beatrice ne mu maaso ga bannaddiini banne era n'asaba abaali mu lukiiko okwongera okumusabira.

Ensonda zaategeezezza nti we yagendera ewa Kazimba, Judith yali amaze okusisinkana mikwano gya Ntagali n'alambika bye yeetaaga omwali okumufunira bizinensi, okumuwa ensimbi z'okwebeezaawo n'okulabirira omwana ow'emyaka ebiri gw'agamba nti wa Ntagali, era byonna Ntagali n'akkiriza okubikola.

Wadde Ntagali nti yali atuukirizza bye yeeyama okukolera Judith, wabula ekiwayi kya bannaddiini abava e Kabale abamu kyasitula enkundi nga kigamba nti amateeka g'Ekkanisa galina okugobererwa era ekiwayi ekyo kyasinza amaanyi ne bataputa
amateeka kye googera ku munnaddiini abeera agudde mu nsobi.

Ensonda zaategeezezza nti waaliwo abaali baagala ensonga ekuumibwe nga ya kyama munda mu kkanisa, wabula abataputa etteeka ne balambika nti kiba kikyamu kubanga etteeka liragira nti agudde mu nsobi alina okuyimirizibwa okukulemberamu
okusaba kwonna, okussaako emikono, okubatiza, okugatta abagole oba okwawula abaawule ne bannaddiini abalala ate ne kitakoma awo wabula Abakristaayo ne bategeezebwa ebisaliddwaawo.

                                Judith Tukamuhabwa.

Wano Kazimba we yeesigamye okussa mu nkola ebyavudde mu Provincial Tribunal eyasembye okuyimiriza Ntagali. Bwatyo Kazimba n'awandiika ng'ategeeza Ekkanisa n'omukago ogugatta amakanisa mu nsi yonna ogwa Global Anglican Future Conference (GAFCON).

OBUTABANGUKO MU MAKA GA JUDITH
Judith ayogerwako ng'omukazi omucakaze era nti bye byasinga okuvangako obutabanguko mu maka nga bba Rev. Tugumehabwe, amunenya olw'okugendanga mu biduula ate nga mukazi wa mwawule.

Olumu Judith nti yakomangawo awaka ng'atamidde ekyanyiizanga omwawule ng'agamba nti kityoboola ekitiibwa kye nga Omwawule.

Rev. Tugumehabwe okuwasa Judith waaliwo enkalu ng'abamu bagamba nti omukazi aliko ebibuuzo bingi, wabula Omwawule yali amaze okusalawo.

Enkalu ezo ezaatandika mu 2017 zaali zeesigamizibwa ku kwemulugunya okwava mu ffamire ya Isaac Akamutuha eyali yawasa Judith n'amuteeka awaka, wabula Isaac
n'agenda Abu Dhabi ku kyeyo.

Edduuka Ku Kizimbe Kya Amazon E Mbarara Tuhamuhabwa We Yali Akolera.

Aba ffamire ya Isaac kyabakuba wala nga bakitegedde nti Judith gwe baaleka mu maka n'abaana babiri era nga Isaac yali amuweereza n'ensimbi z'okulabirira awaka, ate asazeewo okufumbirwa Omwawule.

Baagezaako okwekubira enduulu mu kkanisa ne poliisi kyokka ne bategeezebwa nti tebasobola kuyambibwa kubanga obufumbo bwa Judith ne Isaac tebwali butongole era nga tebumanyiddwa mu mateeka.

Ekkanisa e Kabale nayo yali yeetemyemu olwa Rev. Christopher okuwasa Judith nga waakayita myezi mukaaga gyokka nga Christopher afiiriddwa mukazi we eyalwala kookolo.

Obwangu obwakozesebwa bwali ng'obukakasa ebyali byogerwa nti omwawule yalina enkolagana eyeenjawulo ne Judith nga ssinga tekyali bwe kityo emyezi omukaaga
egyali gyakayitawo nga Christopher afi iriddwa mukazi we gyali mitono eri Christopher okukungubaga n'afuna n'embavu ezifuna omukazi omulala n'asobola n'okutegekeramu embaga.

Obunkenke bwali bwa maanyi ku mbaga ya Judith ng'agattibwa n'Omwawule era nti Judith yayitanga abaserikale ne bajja mu kifo abagole we baali batudde n'abaweera awo ebiragiro okunyweza ebyokwerinda.

Abaana ababiri Judith be yali alina mu kiseera ekyo yava nabo mu nnyumba ya Isaac n'agenda nabo mu bufumbo ewa Rev. Christopher. Olwo Rev. Christopher yali asula mu nnyumba ya yunivasite y'Obukulisitaayo eya Bishop Burham e Kabale.

Yunivasite eno eri wansi wa yunivasite y'Obukulistaayo e Mukono (UCC) era obutabanguko mu maka ga Judith n'Omwawule bwe bweyongera, abakulira yunivaasite ne basalawo obutazza buggya kontulakiti y'Omwawule ey'okusomesa era ne bamuggya ne mu nnyumba ya yunivasite, n'apangisa ennyumba e Rwakaraba mu Kabale mwe yagenda ne Judith.

"Olumu Omwawule yalwana ne Judith ne bafuluma ennyumba nga bakubagana ne kisasamaza yunivasite yonna we baali basula era abaddukanya yunivasite kwe baasinziira okubagoba mu nnyumba n'omulimu ne gufa olw'obutabanguko mu maka." Omu ku bazze bagoberera ensonga eno bwe yategeezezza Bukedde.

Wakati mu bizibu ebyo, Judith n'amatiza bba (Omwawule) batandike bbizinensi ya ffamire era ne bakola edduuka ly'engoye e Mbarara era omukazi n'ava e Kabale n'agenda e Mbarara okuddukanya bizinensi n'apangisa n'ennyumba mwe yasulanga.

Oluvannyuma Judith yafuna olubuto, kyokka bba n'alubuusabuusa kubanga ekiseera we yalufunira, enkwatagana yali ntono wakati waabwe nga n'ensonga z'ekisenge zaacankalana.

Obukuubagano bweyongera nga Judith amaze okuzaala era omukazi n'asalawo n'okutwala omusango mu kkooti e Mbarara ng'asaba okugattululwa ne Rev. Christopher.

E Mbarara, edduuka lya Judith lyasooka kuba ku City Light Arcade ku Makhansigh Street kyokka Judith n'alizza ku New Amazon ekiri ku Mbarara High Street. Edduuka lyali ku mwaliiro gw'okubiri ku Amazon, ekisenge 11 (L2-11).

Wano yaswalizaawo omwawule nakamala ng'anywa omwenge n'okusula mu ndongo. Abakolera ku kizimbe kino baalina ekibiina mwe batereka 100,000/- buli wiiki kyokka Judith yalina emigabo esatu ng'atereka 300,000/- buli wiiki.

Omuggalo gwa Covid 19, bwe gwawedde, Omwawule yazze n'emmotoka n'atikka ebintu mu dduuka n'abitwala. Okuva olwo Judith kigambibwa nti yasengukidde Ntebe. Ng'ali e Mbarara yali asula Katete ward, Nyamitanga.

JUDITH ATWALA ENSONGA EWA SSAABALABIRIZI KAZIMBA
Christopher bwe yayawukanye ne Judith, omuliro Judith kwe kuguzza ewa Ntagali ng'akimussaako nti ebizibu byonna by'alimu byatandikira ku mwana gwe yamuzaalamu era n'atandika okussaawo obukwakkulizo obw'enjawulo era n'amaliriza ng'ensonga azitutte mu ofiisi ya Ssaabalabirizi Kazimba e Namirembe.

Kigambibwa nti ensonga yazitwalayo mwaka guwedde era bamaze emyezi nga mukaaga nga bazuuzumba nazo okutuusa lwe kyasaliddwaawo Ntagali agaanibwe okukola emikolo gy'Ekkanisa.

Eggulo waabadde wategekeddwaawo olukiiko lw'Abalabirizi okwogera ku nsonga zino.
Wabula lwasaziddwaamu oluvannyuma lw'okutegeezebwa nti Kazimba teyasobodde kukomawo mu budde okuva mu Bulabirizi bw'e Kigezi gye yabadde agenze ku mikolo egyabaddewo ku Lwokubiri.

Judith alina emisango mu kkooti okuli egyekuusa ku basajja abalala era byonna tugenda kubikutuusaako. 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...