
Honarebo Ssegirinya ng'alumya abayaaye.
NKUBAKYEYO Goolixy Nalumansi eyali muninkini w'omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya akiise ensingo.
Alumirizza Ssegirinya obutamulabawo ng'amaze okuwangula kyokka nga ye (Goolixy) agamba amubeereddewo nnyo n'okumusabira emikisa okutuuka ku buwanguzi buno.
Mu katambi ke yeekutte, ono yasoose kwebaza Bannakawempe okulonda Ssegirinya bwe baamuyiiriddewo omubiri n'agattako ne bankubakyeyo b'agamba nti nabo bamubeereddewo naddala mu nsonga z'ebyensimbi.
Yagambye nti yeewuunya Ssegirinya okuba nti asiima n'okwebaza abantu abamubeereddewo mu kalulu kano kyokka ye Goolixy eyakulembeddemu bankuba kyeyo mu kutambuza ekintu tamwogerako.
Ono gwe yayogeddeko nga ‘Chinese Height' yagasseeko nti "Mwami wange Ssegirinya
era njagala okukujjukiza kye wansuubiza nti bw'onoowangula obwa ‘honalebo' ng'ontongoza.
Ssebo kye kiseera weetereeze ontongoze nga Haki yo nnamba bbiri. Nkimanyi Maama Nagirinya gy'ali naye nze sikirinaako buzibu kubeera nnamba bbiri ate ekirungi
n'eddiini ekukkiriza.''