TOP
  • Home
  • News
  • Obugagga bwa Bisaka buwuniikiriza

Obugagga bwa Bisaka buwuniikiriza

Added 21st January 2021

Amaka ga Bisaka agali ku kyalo Kapyemi.

Amaka ga Bisaka agali ku kyalo Kapyemi.

OBUGAGGA Bisaka bw'alese obuli mu buwumbi buwuniikirizza abantu abagamba nti, tabadde na mulimu mutongole gw'aggyamu ssente.

Owobusobozi Desteo Bisaka abadde akulira enzikiriza ya Unity of Faith Movement, kigambibwa nti, yafudde ku Lwokubiri mu ddwaaliro erimu e Nairobi mu Kenya n'aleka abagoberezi b'enzikiriza ye mu bbanga.

Okufa kwe, kwalese ebibuuzo bingi naddala ku bagoberezi kye bagenda okuzzaako n'okutwala enzikiriza mu maaso.

Enzikiriza ya Unity of Faith Movement, erina amasinzizo ge baatuuma ‘Itambiro' 1,230 mu mawanga ga East Afrika okuli Uganda, Kenya, Rwanda, Tanzania, Burundi ssaako South Sudan ne Congo nga 1,000 ku go, gali mu Uganda.

Agamu ku masinsizo agali mu Uganda kuliko ery'e Kagadi ku kyalo Muhorro awali ekitebe ekikulu, Kabaale, Kibaale, Kyegegwa, Mityana, Mubende, Kiboga, Kyankwanzi, Mbarara, Kisoro, Bundibugyo, Fort Portal, Kasese, Kampala n'awalala.

Omu ku bagoberezi b'enzikiriza eno ataayagadde kumwatuukiriza manya yagambye nti, buli awali ‘Itambiro' ekyapa kyawo kiri mu manya ga Bisaka.
"Abagoberezi be babadde bagula ettaka ekyapa ne bakiteeka mu mannya ga Bisaka ne bazimba era buli Itambiro we liri, lyazimbibwa mu ngeri ey'omulembe." Omu
ku bagoberezi bwe yagambye.

                                 Bisaka Lwe Yaweza Emyaka 90.

Bisaka alina ekizimbe kya kalina okuli ofiisi z'enzikiriza ye mu ttawuni y'e Kagadi
ekibalirirwamu obuwumbi 10, alina ekizimbe ky'amaduuka ku Kihereza mu ttawuni
kkanso y'e Muhorro, essomero lya Owobusobozi Bisaka Mordern SS mu ttawuni kkanso y'e Muhorro mu disitulikiti y'e Kagadi n'ebirala mu bitundu eby'enjawulo okwetooloola disitulikiti z'obugwanjuba.

"Ku bugagga bw'alina mu bintu ebikalu, abadde alina ssente nnyingi naffe ze tutannategeera muwendo mu bbanka ez'enjawulo n'awaka mu kisenge era kyaggaddwa okutuusa ng'ensonga zonna zimaze okutereezebwa." Ensonda bwe zaategeezezza.

Alina amaka ggaggadde e Kapyemi, Muhorro mwe yateeka bakyala be bana era bonna abadde asula nabo mu nnyumba emu.

ABAGOBEREZI GABEESIBYE
Ensonda zaategeezezza tebamanyi kyakuzzaako naddala ku ky'omusika wa Bisaka. Balina okusoomooza okulala abagoberezi bangi bulijjo Bisaka bamumanyi nga ‘Katonda waabwe', okufa kwe abagoberezi bangi baakitutte nti, enzikiriza bulijjo gye balimu ebadde ya kubatimba bbula.

Bisaka, yasemba okulabibwako mu bantu, ng'asabira Pulezidenti Museveni akalulu
e Kyaterekera mu disitulikiti y'e Kibaale era bwe yava eyo, yagenda e Mbarara teyaddamu kulabika mu bantu.

Emu Ku Mmotoka Za Bisaka.

Ensonda zaategeezezza nti, bwe yava e Mbarara, yatandika okunafuwa ne bamutwala mu ddwaaliro e Nakasero wabula embeera ne yeeyongera okubeera embi n'atwalibwa e Kenya mu ddwaaliro erimu gye yafiiridde.

Bakyala be bana, kigambibwa nti, bonna yagenda nabo era be babadde bamujjanjaba.

KIKI EKIDDAKO
We bwazibidde ku Lwokusatu, ng'abaffamire n'abamu ku bakulu mu nzikiriza
batandise okutuuka ku kitebe  ky'enzikiriza ya Owobusobozi okutema empenda ku kyebagenda okuzzaako.

Mu byakkiriziganyiziddwaako, ensonda zaategeezezza nti, omulambo gwa Bisaka baabadde basazeewo okugukaza baguteeke mu ndabirwamu abantu we basobola okugulabirangako.

Abantu bangi abazze bavumirira enzikiriza ye nga bakiyita ekidiinidiini kyokka bano nabo azze abawangulira mu bikolwa era enzikiriza ye, ebadde ekuze nga kigambibwa
nti, erimu abagoberezi abasoba mu bukadde butaano.

Mu February omwaka oguwedde yafuna obutakkaanya n'Obukama bwa Bunyoro ku
mpuku za Semwema omwali muterekebwa ebintu by'Obukama eby'edda bwe yagamba nti, empuku zino ze zitereka ebyawongo bya sitaani abagoberezi  be ne bazirumba ne bazikumako omuliro.

Omusango guno, gwagenda mu kkooti wabula w'afiiridde gubadde tegunnasalibwa.

EBIKWATA KU BISAKA

1. Kitaawe ye yali Petero Byombi eyali omusomesa w'eddiini mu Klezia okumala
emyaka 58.
2. Ebbanga kitaawe lye yamala ng'aweereza Klezia, Bisaka kyamuyamba okuyiga
ebikwata ku Bukatoliki era oluvannyuma naye yafuuka Musomesa. Jjajja
we Petero Muhiiji, naye yali omu ku baasooka okuyingira eddiini ng'abafuzi
b'amatwale baakajja mu Uganda.
3. Mu 1944, Bisaka yagezaako okuyingira ekigo okusoma obwa ffaaza wabula
yamaliriza asindikiddwa Nsamizi mu ttendekero ly'abasomesa.
4. Mu 1949, yagula ettaka yiika 89 era lino oluvannyuma kwe kwazimbibwa ekitebe ky'enzikiriza.
5. Mu 1966, yatandika okuyiiya ennyimba za Klezia omwali ne ‘Nkaikiriza
Ruhanga Murungi' olwayatiikirira ennyo.

Kiwanuuzibwa nti, mu 1980 nga February 2, yakwata ku muwala omuto eyali omulwadde n'awona.
6. Mu mwaka ogwo, yatandika Itambiro Ly'omukama Ruhanga Owamahe Goona
Ery'obumu oluvannyuma eyakyusa erinnya n'efuuka Faith of Unity Movement.

7. Mu 1985, yawandiika ‘bayibuli' y'enzikiriza ye mu Runyoro.
8. Mu 1989, baagikyusa ne bagiteeka ne mu Luzungu.
9. Mu 1989, Gavumenti yawera enzikiriza eno
10 .Mu 1995, Gavumenti yagyiggyako envumbo n'etongozebwa mu nzikiriza
eziri mu ggwanga.
11. Nga June 11, 2005, Pulezidenti Museveni yaggulawo ekitebe ky'enzikiriza eno e
Kagadi.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...

Mukasa eyakubiddwa.

Omusawo w'ekinnansi awonye ...

OMUSAWO w'ekinnansi gwe balumiriza okufera abantu asimattuse okuttibwa abasuubuzi bwe bamukubye. Andrew Mukasa...

Abayizi lwe baababuulidde ku Lwokutaano.

Abayizi ba S4 batandise lee...

OLWALEERO abayizi ba S4 lwe batandika okukola ebibuuzo by'akamalirizo bye bagenda okutuula okutuusa nga April 6,...

Abaagala okugaggawala mukol...

OMUSUMBA w'essaza lya Kasana Luweero, Paul Semwogerere awadde amagezi abaagala okugaggawala beewale okwesaasira,...

Omusumba Ndalike

Omusumba avumiridde abeeraguza

OMUSUMBA Stephen Ndalike atwala ettwale ly'e Luzira mu Kkanisa y'Abadiventi avumiridde omuze gw'okweraguza ogweyongedde...