TOP
  • Home
  • News
  • Ebyewuunyisa mu kalulu ka Kampala

Ebyewuunyisa mu kalulu ka Kampala

Added 22nd January 2021

Erias Lukwago ng’amenyeka omuziki oluvannyuma lw’okuwangula obwa  Loodi Mmeeya ekisanja ekyokusatu.

Erias Lukwago ng’amenyeka omuziki oluvannyuma lw’okuwangula obwa Loodi Mmeeya ekisanja ekyokusatu.

OKULONDA kwa Loodi Mmeeya ne bakkansala mu Kampala kubaddemu ebyewuunyisa, abalonzi bwe baalonze FDC Erias Lukwago) ku kifo ky'Omuloodi kyokka bwe baatuuse ku bakkansala b'agenda okukola nabo, ne bajjuzaayo ba NUP.

Olukiiko lwa KCCA olupya lugenda kutuulako bakkansala 51 okuva ku 35 ababaddeyo. Kino kiddiridde akakiiko k'ebyokulonda okwongera ku muwendo gwabwe. Ebyabadde byakava mu kubala obulula, biraga nti NUP yayisizzaamu bakkansala 30.

Lukwago (FDC) yawangudde n'obululu 194,593 n'addirirwa Nabillah Naggayi (NUP) n'obululu 60,082, Daniel Kazibwe ‘Ragga Dee' owa NRM yakutte kyakusatu n'obululu 23,000, Joseph Mayanja ‘Chameleone' yakutte kyakuna n'obululu 12,212, Charles Senkubuge owa DP yakutte kyakutaano n'obululu 2,355 olwo abalala ne bagoberera.

                  KaluluKalulu 1

Ebbinu ly'obuwanguzi bwa Lukwago lyatandikiddewo ku Lwokusatu abawagizi bwe beeyiye mu maka ge e Wakaliga ne balya n'okulya nga beekulisa. Kyokka wadde aba NUP ekya Lood Mmeeya kyabalemye, baasobodde okusuuza FDC ne NRM ebifo ebisinga obungi nga kati NUP ky'ekibiina ekigenda okutambulirako ebyobufuzi bya KCCA mu kisanja ekya 2021- 2026.

                         Kalulu 3Kalulu 2

BAKKANSALA
Ku mutendera gwa bakkansala, abalonzi baakutte lweyo ne bagoba ababadde bavuganya ku kkaadi z'ebibiina ebirala. Mu Kampala Central, ebifo byonna ebya bakkansala byawanguddwa NUP. Moses Kataabu okuva mu Kisenyi, Francies Mbaziira okuva e Kamwokya n'omukyala Mavies Nakitende aba NUP be baayiseemu.

                        Kalulu 4Kalulu 5

                       Kalulu 6

KAWEMPE: Ekitundu kya Kawempe North kyasalibwamu ne kissibwamu bakkansala abakyala babiri n'abaami basatu. Mushin Kakande (NUP) yawangudde omuluka gwa Kawempe I. Ate Nusifah Nakato (NUP) yawangudde Rashidah Naluwooza.

Abalala abaawangudde kuliko Saulo Kulya (NUP) owa Kawempe North II, Hawa Nansubuga yawangudde eky'omukyala mu Kawempe North II, Boniface Bukenya (NUP) yawangudde mu Kawempe III.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'cokoleti'

Omufumbi wa Kkwiini ayoged...

KKWIINI Elizabeth II ayagala kkeeki erimu ekirungo kya ‘chocolate' wabula okusinziira ku biragiro by'abasawo waakiri...

Fr. Anthony Musaala (ku ddyo) ng’abuuza ku Kiwanda ne Ying. Joseph Ssewava oluvannyuma lwa Mmisa mu Lutikko e Lubaga.

▶️ Mutusonyiwe bye twayog...

AMYUKA ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi yeetondedde Eklezia olw'okusowagana okwaliwo mu kiseera...

Abamu ku batuuze nga bali mu maka g’omubaka Betty Nambooze (mu katono).

Ab'e Kigombya balabudde Gav...

ABATUUZE ku kyalo Kigombya mu disitulikiti y'e Mukono, bawadde gavumenti nsalessale ya myezi ena okutuuka mu mwezi...

Emmotoka ya Kyagulanyi (mu katono) empya.

Enkalu zeeyongedde ku mmoto...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine bijjulidde kkooti erina okuyisa ekiragiro ekiwaliriza nnannyini yo okugizzaayo mu kitongole...

Muzaata ne Bakazi be Kluthum ne Bugirita

Ekiraamo kya Muzaata kirees...

SHEIKH Umar Swidiq Ndawula asomye ekigambibwa okuba ekiraamo kya Sheikh Nuhu Muzaata ne kyongera okusajjula embeera...