TOP
  • Home
  • News
  • Pulezidenti Museveni avudde e Rwakitura ng'asiima abalonzi

Pulezidenti Museveni avudde e Rwakitura ng'asiima abalonzi

Added 22nd January 2021

Pulezidenti Museveni ng’ayogera eri ab’e Lyantonde eggulo.

Pulezidenti Museveni ng’ayogera eri ab’e Lyantonde eggulo.

PULEZIDENTI Museveni akomeddewo mu maanyi okuva mu makaage e Rwakitura gy'abadde okuva lwe yawangula akalulu okujja mu Kampala.

Olugendo lwa Pulezidenti okuva e Rwakitura okujja mu Kampala lwabadde lwa byafaayo anti bakira obwedda oluseregende lw'emmotoka ze lugenda luyimirira nga avaamu okubuuza ku bantu obwedda abakwatiridde ku makubo nga bamulindiridde.

Abawagizi be obwedda bayisa ebivvulu ku makubo wamu n'okugoberera ‘convoy' ye ekintu ekyaleeseewo akalippagano k'ebyentambula ku nguudo.

Okuva e Rwakitura Pulezidenti yasoose kuyimirira Lyatonde wano nga yeebazizza abawagizi be olw'okumulonda mu bungi ,kyokka yabalabudde ku kirwadde kya Corona n'abasaba obutakung'ana mu bungi nga bwe baabadde bakoze.

Yabategeezezza nti waakwongera okwogerako nabo ng'ayita ku mikutu gya leediyo.
Pulezidenti yazzeemu okuyimirira mu katawuni k'e Kitovu e Lyatonde nawo era n'abuuza ku bawagizi be .

Ebifo ebirala bye yayimiriddeko kuliko Lukaya, Kayabwe, Mpigi, Busega ne ku kibangirizi kya Ssemateeka mu Kampala we yabadde alina okutuukira.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...