TOP
  • Home
  • News
  • Abakulembeze bayozaayozezza Museveni okuwangula

Abakulembeze bayozaayozezza Museveni okuwangula

Added 22nd January 2021

Putin owa Russia

Putin owa Russia

ABAKULEMBEZE b'amawanga bayozaayozezza Pulezidenti Museveni olw'okuddamu okulondebwa ku bwapulezidenti bwa Uganda.

Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin yayozaayozezza Museveni n'amwagaliza emikisa, n'obulamu obulungi mu bukulembeze bwe. Yagambye nti Uganda ne Russia zibadde n'enkolagana okuva emabega era asuubira nti enkolagana eno ejja kugenda mu maaso.

Hua Chunying, omwogezi wa minisitule y'ensonga z'ebweru w'eggwanga eya China yayogedde ku Uganda nga mukwano gwabwe ennyo mu mawanga g'obuvanjuba bwa Africa. Yagambye nti ensi zombi zirina bingi bye zifaanaganya era ebibala ebivuddemu bisobodde okuganyula amawanga gombi.

                         Magufuli

Abakulembeze abalala abaavuddeyo ne bayozaayoza Pulezidenti Museveni olw'okulondebwa ku kisanja ekirala kuliko; John Pombe Magufuli owa Tanzania
ne Katikkiro wa Ethiopia, Abiy Ahmed.

Salva Kiir owa South Sudan yagambye nti wansi w'obukulembeze bwa Museveni,
Uganda esobodde okubeera entabiro y'ebyenfuna n'emirembe mu mawanga agagiriraanye.

Ku lw'abantu ba South Sudan yagambye nti bulijjo basiima Pulezidenti Museveni olw'eddimu lye yakola okutebenkeza ensi yaabwe n'eddamu emirembe.

Uhuru Kenyatta owa Kenya yakakasizza nga Kenya bw'ejja okusigala ng'ekwatagana bulungi ne Uganda mu mukago gw'amawanga ga Afrika, kuba Museveni amanyiddwa ng'omusajja alwanirira emirembe mu nsi za Africa zonna.

Evariste Ndayishimiye, pulezidenti wa Burundi yatenderezza Bannayuganda olw'okukola okusalawo okutuufu.

               Kenyatta

Pulezidenti Museveni yalangiriddwa ku buwanguzi ku Lwomukaaga ng'afunye obululu ebitundu 58.6 ku buli 100. Robert Kyagulanyi Ssentamu owa NUP eyamuddiridde yafunye ebitundu 34.8 ku buli 100.

Obuwanguzi bwa Museveni butegeeza nti agenda kuweza emyaka 40 ng'akulembera eggwanga okuva lwe yakwata obuyinza mu 1986 ng'ayita mu kuwamba.

Oluvannyuma yateekawo okulonda kwa bonna okuva mu 1996 era azze awangula okulonda buli luvannyuma lwa myaka etaano okuzze kutegekebwa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekabembe ng’alaga ezimu ku keeki eziwedde okuyooyootebwa.

Ssekabembe eyatandika ne 25...

SINKANA Brenda Sekabembe alina emyaka 42 nga ye mutandisi wa kkampuni ekola keeki eya Bake for Me esangibwa mu...

Poliisi ng’ewalabanya omu ku baaziikudde omulambo gwa Ssali.

▶️ Poliisi egugumbudde abaa...

AMASASI ganyoose mu kuziika nga poliisi egumbulula ebbiina ly'abavubuka abeeridde omuguju ne baziikula omulambo...

Abamu ku basuubuzi abaalumbye ofi isi ya Kushaba.

▶️ Omukazi eyawambye akatal...

MINISITA wa Kampala alagidde omukyala Suzan Kushaba okwamuka mu bwangu ofi isi za KCCA ze yawambye ne yeerangirira...

Abakungu okuva mu kitongole ky’ebyobulamu oluvannyuma lw’eddagala erigema COVID 19 okutuuka mu ggwanga. Baabadde ku kisaawe e Ntebe.

▶️ Okugema Corona kutandika...

BANNAYUGANDA babagumizza ku ddagala erigema corona eryatuuse mu ggwanga nga bwe litalina buzibu eri obulamu bw'abantu....

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...